• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ennyingo 10 Omukulembeze z’Atalina Kubuusa Maaso

Gambuuze by Gambuuze
October 3, 2025
in Amawulire
0 0
0
Ennyingo 10 Omukulembeze z’Atalina Kubuusa Maaso
0
SHARES
206
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Mmengo – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga alambise ennyingo 10, omukulembeze yenna omulungi z’alina okwekwata okutuusa obuweereza obulungi eri baakulembera.

Katikkiro ennyingo zino azitanyizza bw’abadde asisinkanye abakulembeze b’abayizi okuva mu Kamplala International University okubadde aba Guild Union, aba Nkobazambogo n’abalala.

Katikkiro Mayiga ennyingo z’alambise ze zino mu bujjuvu;

1. Obwesimbu; Katikkiro ategeezezza nti omukulembeze ateekwa okukola ekintu ekituufu newankubadde tewali amulaba, n’akola ekyo ekimusuubirwamu era ekiyamba baakulembera.

2. Obwetowaze; annyonnyodde nti omukulembeze talina kugujubanira bitiibwa wabula okwetowaza ate nga kino kisinga kulabikira mu mbeera ng’omuntu akakkanye eri oyo atamulinaako buyinza oba omuntu owa bulijjo.

3. Okubeera n’ekigendererwa; obutamala gagenda na bijja bigwawo oba ebyogerwa, omukulembeze talina kuwugukawuguka wabula okumalirira kw’ebyo by’agenderera okukola oba okutuukiriza.

4. Okubeera n’okwolesebwa; omukulembeze talina kuba muntu alowooza obulowooza nti ayagala kifo bufo, wabula alina okubeera n’ensonga emuleeta mu bukulembeze nga yeebuuza lwaki agwanidde okwenyigira mu bukulembeze era biki by’agenda okukolera baakulembera.

5. Okubeera Omukozi; omukulembeze talina kwogera bwogezi oba kutuula mu nkiiko na mu woofiisi, ateekwa okutuuka mu bantu ne yenyigira mu mirimu, akikaatiriza nti omukulembeze talina kubeera munafu ateekwa okuba n’obusobozi okukola ebigya mu buvunanyizibwa bwe.

6. Obumanyi; omukulembeze alina okubeera omumanyi mu nsonga ez’enjawulo n’ebintu bingi ebikwata ku bantu be oba ekitundu ky’akulembera n’ebyo ebikyetoolodde. Ategeezezza nti omukulembeze atalina kumanya mirundi mingi abeera mulimba era akola ebitajja nsa.

7. Okutegeera ebiruubirirwa by’abantu b’okulembera n’enneeyisa yaabwe; abantu balina ebintu eby’enjawulo bye baagala ne bye bakiririzaamu, omukulembeze alina okubitegeera okusobola okubaweereza obulungi nabo okuwulira nti abakulembera y’oyo omutuufu.

8.Okwerabirira; Katikkiro annyonnyola nti omukulembeze yenna alina okulabika obulungi mu nnyambala, mu mubiri, nga kino kitegeeza okwefaako, bwatyo akubirizza abakulembeze okwefaako okulya obulungi, okwamabala obulungi olwo abantu basobole okubawa ekitiibwa anti kyongerwa nti ‘endabika yo ky’ekitiibwa kyo’

19. Obugumiikiriza; Kamalabyonna annyonnyola nti abakulemberwa balina ebiwayi eby’enjawulo mu mbeera zaabwe, amawanga n’ebirala, kino kyetaagisa omukulembeze okubeera omugumiikiriza ng’awa buli omu obudde n’amuwuliriza awatali kwekanya. Ategeezezza nti ne mu bintu eby’enjawulo naddala okusomoozebwa omukulembeze yenna kw’ayitamu alina okubeera omugumiikiriza.

10. Okuwuliriza; Katikkiro ategeezezza nti omukulembeze omulungi y’oyo awuliriza abantu kye bagamba so si oyo ayagala okuwulirizibwa kyokka nga tafaayo ku balala kye boogera. Asabye abakulembeze okufaayo ku be bakulembera bye boogera.

Katikkiro Mayiga mu mbeera y’okuba nti abagenyi be babadde bayizi, abakubirizza okufaayo ku misomo gyabwe ate n’okuluubiriranga ebinene mu Nsi ng’akikaatiriza nti oyo aluubirira ebinene bwe bigaana abaako n’ekitono ky’abuukawo nakyo kyokka aluubirira ekitono amaliriza nakyo takifunye.

Ensisinkano yetabiddwamu Baminisita ba Kabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke ne Owek. Amisi Kakomo ng’ono y’akiikiridde Minisita w’Abavubuka Owek. Robert Serwanga. Owek. Kokomo abavubuka bano abasibiridde entanda ya butakaaba bisoomooza wabula okubinogeranga eddagala, annyonnyodde nti omukulembeze akaaba ebizibu n’abantu bamukoowa wabula alina okusala amagezi okulaba nga bivvuunukibwa.

Ssaabawandiisi wa Nkobazambogo mu ggwanga Ndagire Christine y’akulembeddemu bakulembeze banne era abayizi ku Kampala International University, ono ategeezeza nti ensonga enkulu ebaleese Embuga kwe kuluŋŋamizibwa ku ntambuza y’obukulembeze era yebazizza nnyo Katikkiro olw’okubawanga obudde n’abawabula mu mbeera ez’enjawulo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.