Bya Shafic Miiro
Masaka – Buddu
Minisita w’Amawulire n’Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka Oweek. Israel Kazibwe Kitooke akubirizza abantu ba Buganda okunyweza obumu okuviira ddala mu Maka gaabwe okusobola okwekulaakulanya.
Obubaka buno, Owek. Kazibwe abuweeredde mu maka g’Omugenzi Yozefu Kalemba Ssajjabbi, bazukkulu ba Mbaziira okuva mu lunyiriri lwa Mungi abeddira Nnyonyi Nnyange mukumanyagana kwebabadde nakwo e Masaka mu Buddu.
Minisita Kitooke avvumiridde okweyawulawula okususse ensangi zino, ky’agambye nti kikosa enkulaakulana olwa buli omu okusigala ku lulwe, ne watabaawo kuwabulaŋŋana.
Ono era asabye abantu okutambulira mu buufu bwa Ssaabasajja nga bw’azze akubirizza Obumu mu bantu be, babunyikize okuviira ddala mu maka, mu Bika, ku Byalo na buli kimu kye bakola okusobola okwekulaakulanyiza awamu.
Ye Katikkiro w’Ekika kya Nnyange, Omutaka Kato Lutuuma Fenekansi asinzidde wano n’akubiriza abazzukulu obutetundako ttaka, wabula balikozese okwekulaakulanya naddala nga bajjumbira okulima emmwanyi ng’enteekateeka y’Obwakabaka bw’erambika.
Minisita wa Kabineeti Olukiiko n’Ensonga ez’enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro era nga mujjwa mu lujja luno, Owek. Noah Kiyimba, ku lw’abenju yeebaziza nnyo bakojja be olw’okutabaganya Oluganda.
Owek. Kiyimba asinzidde wano n’avvumirira eky’abantu naddala abasika abatemaatema mu bye basikidde ne babitunda okubimalawo naabasaba okukomya okweyagaliza n’okwagala okufuna amangu .
Ono akubirizza abantu bulijjo bwe babaako bye bafunye naddala mu busika, babikulaakulanye ate n’emirembe egiddako gibiganyulwemu.
Omukolo guno gwatandise n’ekitambiro kya mmisa ekikulembeddwamu Msgr. Alipio Kyambadde era ono akubirizza bazukkulu banne okwongera okukolagana ng’enkuyege mu mirimu gye bakola, kibayambeko okwekulaakulanya n’okukuuma obumu.