Enkalu zeeyongedde mu kibiina kl National Resistence Movement (NRM) mu kalulu k’okujjuza ebifo by’ akakiiko ak’okuntiko akamanyiddwa nga CEC.
Nampala wa gavumenti mu palamenti Ruth Nankabirwa, avuddeyo nasaba abalonzi wonna mu ggwanga okulonda Minisita w’ebyettaka Persis Namuganza balekewo Sipiika Rebecca Kadaga ku kifo ky’omumyuka asooka owa ssentebe w’ekibiina omukyala kubanga akukuta ne Opozisoni.
Nankabirwa yategeezezza nti, “Nze mmanyi kye mbadde mpitamu mu palamenti, twagala abantu abewaayo okulwanirira ekibiina kyaffe sso si abantu abalyamu ekibiina kyaffe olukwe nga bakolagana ne Opozisoni ”
Ono yakozesa obubaka bw’amaloboozi bweyatadde ku mutimbagano nasindika eri abalonzi nga abakunga okulonda Namuganza kubanga akoze bingi ku lw’ekibiina.
Namuganza yalumirizza Sipiika Kadaga okulemesa ensonga ezibeera zisaliddwawo ekibiina ate nga naye mwava.
Ebiseera ebimu Sipiika Kadaga alabiddwako nga ateeka abakungu ba gavumenti ku nninga okunyonyola n’okulaga ensasaanya, okulaga gavumenti weyimiridde n’ekyekozeewo ku nsonga enkulu eziri mu ggwanga.
Olumu ono akuba ttooci wamu n’okupimapima ensalawo ya baminisita, ekintu abali mu gavumenti kyebagamba nti kubeera kugilwanyisa.
Nankabirwa yagasseeko nga ekifo Kadaga ne Namuganza kye baagala bwekiri ekikulu ennyo nga kyetaaga omuntu awagira ensonga z’ekibiina asobole okukolaganira awamu ne ssentebe wakyo ekintu ekyalema Kadaga okukola.
Ono yasabye balonzi obutalonda bantu bakozesa kibiina okwenoonyeza byabwe era beesonyiwe abo abatassa kitibwa mu kusalawo kwa kibiina.
Mu kalulu kano, ebbugumu okusinga liri wakati wa Kadaga ne Namuganza wamu n’omumyuka wa Sipiika Jacob Oulanyah attunka ne Sam Engola.
Bino webigidde nga Pulezidenti Museveni yakamala okusaba abamu ku beesimbyewo okuva mu lwokaano balekere abalala wabula nga ku bifo ebimu Museveni agambibwa okulagira bilekebwe abalonzi basalewo.
Omuyambi wa Kadaga ku nsonga z’amawulire Sam Obbo, yategeezezza nga bwekitali kya bwenkanya okulamula Kadaga nga omuntu asinziira ku mirimu gye mu palamenti kubanga Sipiika tabeera naludda.
Obbo yanyonyodde nti, ensonga lwaki Kadaga wa linnya mu Uganda n’ebweru kiva ku ngeri gyakwatamu emirimu gya palamenti nga agezaako okuwa buli ludda omukisa awatali kwekubira.
ku kifo kya CEC, Obbo yakakasizza nga abalonzi okwetoolola eggwanga bwebajja okusalawo ekituufu kubanga bamanyi obusobozi bwa Kadaga.
Bya URN