Bya Jesse Lwanga
Kampala
Poliisi e Naggalama eri mu kattu okuzuula abazigu abasoba mu 15 abagambibwa okuyingira mu maka ge eyali Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga mu kiro ekyakeesezza olwaleero ne banyaga ebimu ku bintu.
Okusinziira ku batuuze bano, amaka gano baagayingiridde ku ssaawa 7 ez’ekiro e Kyabakadde mu ggombolola ye Kyampisi mu Mukono ne babba essimu abiri, emitwalo 25 ze baggye ku bamu ku bantu abakuuma amaka gano.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigire, agamba nti abazigu bano baasoose kusala kikomera n’oluvannyuma ne bayingira munda nga bambadde obukookolo obwebuzaabuza.
Ono agattako nti bano babadde babagalidde emiggo n’ejjambiya era olwayingidde munda abaabadde ne babasiba obundooya nebakuliita n’ebintu ebiwerako.
Poliisi egamba baliko omu ku bantu ababeera mu nnyumba eno abaakwatiddwa bayambeko ku kunooonyereza okugenda mu maaso.
Okusinziira ku Oweyesigire bye bazudde biraga nti yabuzeewo kyokka n’akomawo ku makya ku ssaawa 12 nga bateebereza okuba nti yabadde amanyi ku lukwe luno.
Mu kiseera kino amaka nga Ssaabasumba awaabadde obubbi buno gazingiddwako poliisi nga tewali muntu yenna akkirizibwa kugenda yo ssaako n’okwogera n’abo abamu ku bantu ababiri abaanyagiddwako ebintu byabwe.
Ebimu ku bintu ebyabadde bibbiddwa poliisi ebizudde era ng’omukwate akuumirwa ku poliisi y’e Naggalama.