
Bya Ssemakula John
Kampala
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, akakasizza nga bwe waliwo ababbi abaayingiridde agamu ku masomero agaliraanye ne we baalumbira Gen. Katumba Wamala ne babba kkamera ezigambibwa okuba nti zaakwata abatemu abaali bagezaako okutemula Minisita w’ebyentambula ono.
Bino Enanga abitegeezezza olukung’aana lwa bannamawulire leero ku Mmande mu Kampala.
Kinajjukirwa nti ku lunaku lwa July 1, 2021, abatemu abatannamanyika baalumba emmotoka Katumba Wamala mwe yali atambulira e Kisota mu Kkulambiro ne bagikuba amasasi okukkakkana nga muwala we gwe yali atambula naye attiddwa ate ye n’asimattuka n’ebisago.
Okusinziira ku Enanga, oluguudo luno poliisi terinaako kkamera naye baali basazeewo okweyambisa ez’obwannannyini eziri mu kitundu kino.
“Twasaba abantu abalina kkamera batuyambe batuwe obutambi. Kkamera ezimu ku masomero agasangibwa ku luguudo lwa ku Ssebaggala Rd zabbiddwa. Ekyabaddewo kwe kuba nti omuntu gwe twasangawo n’akkiriza okutuwa obutambi yali talina bisumuluzo era n’atusuubizza okudda enkeera.
Wabula ekiro ekyo waliwo ababbi abamenya essomero lino ne babba ebintu omwali ne CCTV kkamera.
Wabula Enanga agamba nti mu kiro ekyo kyennyini, kabangali za poliisi ezaali zirawuna ekitundu kino ziriko abantu be zaakwata era baasangibwa ne kkamera ezigambibwa okubeera ez’essomero lino.
Enanga agamba nti kati bakola buli kimu okulaba nga bafuna ebifaananyi okuva ku kkamera zino ze baakutte.
Ono awakanyizza ebibadde byogerwa abaamawulire nti kkamera zino ezabbiddwa zabadde za poliisi, ky’agamba nti si kituufu era n’asaba bannamawulire okuwa abantu amawulire mu butuufu bwago baleme kuwubya bantu n’okubateekamu okutya.









