
Bya Ssemakula John
Kampala
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga alabudde aba boodabooda okwetegeka bannyukire mu budde ng’essaawa emu ey’akawungeezi tennawera kuba bagenda kukwata buli yenna gwe banaasangiriza ng’avuga mu budde bwa kafyu.
Enanga agamba nti baakukola kyonna okulaba nti entambula ya Boodabooda wonna mu ggwanga egondera ebiragiro Pulezidenti Museveni bye yawa gye buvuddeko ng’aggulawo eggwanga.
Okulambika kuno, Enanga yakuwadde eggulo ku Mmande bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire e Naguru mu Kampala.
“Ebiragiro ku boodabooda bikyaliwo, tugenda kusigala nga tukwasisa kafyu w’essaawa emu ey’akawungeezi.” Enanga bwe yannyonnyodde.
Ono yasabye abadigize okwewala okukozesa boodabooda kuba bajja kutaataganyizibwa singa basangibwa ku boodabooda mu ssaawa ze zitateekeddwa kukola.
“Fuba okulaba nti olina entambula bw’oba ogenda mu bbaala. Eri abakozesa boodabooda n’abo abazivuga tubajjukiza nti kafyu waazo akyaliwo nnyo.” Enanga bwe yalambuludde.
Kinajjukirwa nti Pulezidenti Museveni bwe yali ayogera eri eggwanga nga Desemba 32, 2021 yalaga nti ebyenfuna bigenda kuggulwawo omuli n’ebbaala naye boodabooda n’azireka ku muggalo.
Mu bigambo bye, Pulezidenti Museveni yategeeza nti ensonga ya boodabooda ekyali nkalubo nga balina okusigala nga bakugira entambula zaazo naddala mu budde bw’ekiro kuba zino tezikoma ku kwongera kusaasaanya Corona nga zitambuza abantu naye zikozesebwa n’abamenyi b’amateeka.
Kino Pulezidenti Museveni yakizzeemu ng’ali e Nakasero ku kiwedde n’ategeeza nti boodabooda tezirina kukola kusukka ssaawa emu ey’akawungeezi.
Enanga era yasabye abantu okusigala nga bagoberera ebiragiro bya COVID-19 nga bakola emirimu gyabwe kuba ekirwadde kikyaliwo mu bantu.









