
Bya Miiro Shafik
Hotel Africana, Kampala
Omwaka guno Empaka z’Omupiira gw’Ebika zigenda kuba zizanyibwa omulundi ogw’amakumi ataano (50) era mu ngeri ey’enjawulo Minisitule y’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone wamu n’Abataka Abakulu Ab’obusolya baategese ekijjulo okutongoza empaka z’omwaka guno.

Ng’asinziira ku kijjulo kino, Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro nga ye yakiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Buganda okutwala Ebika nga kintu kikulu nnyo era banyweze Obuwangwa n’obulombolombo obutambulira ku bika.

“Bwofumiitiriza singa tetwalina bika, Obwakabaka bwandizzeewo? Kubanga wadde Kabaka yali mu buwanganguse naye emikolo ng’okwanjula n’okwabya ennyimbe byaliwo, okulanya nga weekuli nga n’amawano tegakkirizibwa mu kwanjula, omumuli ogw’Ebika gwasigalawo.” – Oweek. Waggwa
Ayozaayozeza Kabaka, Obwakabaka, Bajjajja Abakulu Ab’obusolya n’Obuganda olw’ekkula ery’okulaba ng’emizannyo mu Bika gituuse ku myaka 50. Asuubiza nti Obwakabaka bwakwongera okusitula Empaka zino, bwatyo era bwatyo n’atongoza enteekateeka zonna ez’emizannyo gy’Ebika ku myaka 50.

“Nga tuzannya Empaka ez’ataano (50), tuzannye kisajja kikulu kubanga ddala tukuze, era tuzannye twolese obumu nga tuwagira Ebika baffe okunyweza Nnamulondo.” – Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka.
Ategeezeza nti buli mulundi Ekika lwe kyetaba mu mpaka zino, kiwanika bbendera yaayo ekiyamba okusembeza ba Jjajja eri bazukkulu baabwe ate n’okunyweza n’okutumbula obumu, bwatyo asabye ebika ebitera okulemererwa okwetabamu, okukola ekisobooka okulaba nga buli mwaka bajjumbira.Omutaka Namwama era asabye abazukkulu okuwagira ebika byabwe nga bayambako abakulira ttiimu z’Ebika okuvvujirira enteekateeka, olwo Ebika byabwe bisobole okuvuganya obulungi.

Oweek. Robert Serwanga Ssaalongo Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone alambuludde enteekateeka z’emipiira gino nga bwe zigenda okubeera era nga zitandika n’okubaka mu bawala okuva nga 20 okutuuka nga 27 omwezi guno olwo abalenzi batandike kw’olwo okutuuka mu mwezi ogw’omukaaga. Omwaka guno Ekika ky’Obutiko kye kiggulawo empaka nga battunka ne Mmamba Gabunga.

Ekijjulo kino ekitegekebwa ku Hotel Africana mu Kampala, kigendereddwamu okusonda ensimbi okuyambako mu kutegeka empaka zino, era kyetabiddwako Abataka Abakulu Ab’obusolya, Katikkiro eyawummula Oweek. Joseph Mulwanyamuli Ssemogerere, Ssaabangazi, bannaddiini ne bannabyafuzi n’abazukkulu mu biti eby’enjawulo










