• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Empaka z’omuzannyo gwa volleyball ez’amazaalibwa ga Kabaka zitongozeddwa

Gambuuze by Gambuuze
March 18, 2020
in Amawulire
0 0
0
Empaka z’omuzannyo gwa volleyball ez’amazaalibwa ga Kabaka zitongozeddwa
0
SHARES
37
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule sipiika w’olukiiko

Musasi waffe

Empaka z’omuzannyo gwa Volleyball okujaguza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olwaleero zitongozeddwa mu Bulange e Mmengo.

Omukolo guno gukoleddwa Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule, sipiika w’Olukiiko lwa Buganda ng’ono yakiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga abadde alina emirimu emirala emitongole gy’agenzeeko.

Okuva kuddyo, Abeebitiibwa, Henry Ssekabembe Kiberu, Patrick Luwaga Mugumbule, Daudi Mpanga, ne Noah Kiyimba

Oweek. Mugumbule agambye nti omuzannyo gwa volleyball mulungi kubanga gwetaaga amaanyi mangi era oyo yenna aguzannya abeera mulamu bulungi.

 “Omuzannyo guno kizzaamu amaanyi nti gukula era tusuubira nti gujja kuba gw’amaanyi nnyo. Nkubiriza abantu bonna okwenyigira mumuzannyo guno era kisanyusa nti kati gutwaliddwa mumasomero abaana baffe abato baguzanye,” Mugumbule bweyagambye.

Yayongeddeko nti bwegugenda mu masomero kitegeeza gugenda kubeerawo ebbanga lyonna.

“Twebaza nnyo abo bonna abagawagira mu ngeri ez’enjawulo,” Mugumbule bweyagambye.

Ate Oweek. Henry Ssekabembe Kiberu, minisita akola ku nsonga z’abavubuka, emizannyo, n’okwewumuza, yagambye nti alina essuubi nti mu bbanga eritali ddene, volleyball gugenda kuba ogumu ku mizannyo egy’ogerwako.

“Tetwetaaga kulinda kuba banene okusobola okutandika, kijja kusoboka okuzimba omuzannyo guno okugutuusa kuddaala ly’emizannyo emirala gyonna. Sirina kubuusabuusa nti guno gw’emuzannyo ogukyasinga okukulira ku sipiidi ennene mumizannyo gyonna gyetulina,” Ssekabembe bweyagambye.

Ku lulwe, Eddi Okira, ssentebe w’empaka za Kabaka birthday tournament, yagambye nti balina essanyu Kabaka okusiima emizannyo gino gibeere egimu kwegyo egigenda okuzannyibwa nga akuza amaaalibwage.

“Twagala okumanya gyetuvudde ng’abantu era tusuubira nti abantu baffe bajja kwemanya nga bayita mu mizannyo gino. Twagala emirembe mu ggwanga lyaffe nga tetufudde ku bulyomu ggwanga lyavaamu,” Okira bweyagambye.

Ku lulwe, Oweek. Daudi Mpanga minisita akola kunsonga ez’enkizo era nga ye ssentebe w’akakiiko akateekateeka amazaalibwa ga Kabaka yagambye nti omuzannyo gwa volleyball mulungi era guweesezza ddala Obwakabak ekitiibwa.

“Nina essanyu lyansusso okulaba nga n’omulundi guno empaka zino zigenda kubaawo,” Mpanga bweyagambye.

Empaka zino zigenda kubaawo omwezi g’okusatu okuva nga 27 okutuuka nga 29.  

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.