Bya Miiro Shafik
Mmengo – Kyaddondo
Empaka z’Omupiira gw’Amasaza (Airtel Buganda Masaza Cup 2026) ez’omulundi ogwa 22 zitongozeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’asinziira ku Bulange e Mengo.Empaka z’Amasaza ga Buganda zaatandika mu 2004 era zizanyibwa buli mwaka, nga zeetabwamu amasaza ga Buganda gonna 18.

Omwaka oguwedde 2025, Buweekula ye yawangula ekikopo, era mu bululu obwakwatibwa gye buvuddeko, bwasuula Buweekula okuggulawo ne Kyaddondo mu mupiira oguggulawo empaka z’omwaka guno nga 13/06/2026 mu kisaawe e Mubende ku NTC.
Bw’abadde atongoza empaka z’omwaka guno, Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye buli alina obuvunanyizibwa mu mpaka zino, okufuba okulaba nga omutindo gusitulwa mu mbeera zonna era omupiira guwangulire ku kisaawe waleme kubaawo bya kwekwasa busongasonga.
“Musitule omutindo ogw’omupiira ogw’omwaka guno 2026, tetwagalamu bungodya, amateeka ngabakwasizza, omupiira guwangula ate guwangulira ku kisaawe, tetwagala mupiira guwangulira eyo mu nkiiko, nti ate ono yawangudde naye, ebyo ebya naye twagala omupiira gugende okubaawo nga byaggwa dda, awangudde ge twagala okulaba ng’akutte ekikopo”, Katikkiro Mayiga.
Kamalabyonna ategeezeza nti empaka z’Amasaza zino ziyamba nnyo mu kutumbula obumu mu bantu ba Kabaka, okusitula ebitone, okuvaamu ensimbi eri abantu, okulwanyisa endwadde naddala okuba nti omulamwa zitunuuliziddwa kulwanyisa mukenenya, n’emiganyulo emirala, bwatyo akuutidde bonna abazeetabamu okulowooza ku bukulu bw’emiganyulo gino, olwo empaka zongere okugatta ku kaweefube w’okuzza Buganda ku ntikko.
Ye Minisita w’Ebyemizannyo mu Buganda Owek. Robert Serwanga ategeezeza nti waliwo ebintu bingi ebyongeddwa mu mpaka zino okusobola okuzitwala mu maaso n’okuzaagazisa buli azeetabamu omuli okukyusa mu mateeka n’ebigobererwa, okutendeka abateesiteesi ku mitendera egy’enjawulo n’ebirala. Ono agamba nti waliwo okugenda mu maaso kwa maanyi ddala, era omuwendo gw’abantu abagoberera empaka zino buli lukya gweyongera. Yebazizza bonna abaliko kye bakola empaka zino okugenda mu maaso.
Ssentebe w’olukiiko olukulembedde okutegeka empaka zino Hajj Sulaiman Ssejengo agambye nti empaka zomwaka guno zaakutambulibwa ku nteekateeka y’Obwakabaka, era olukiiko lutadde amaanyi mu kubangula abalina obuvunaanyizibwa obw’enjawulo mu mpaka omuli, abakuuma obutebenkevu ku bisaawe, bannamawulire, abasawo, abakulira ttiimu n’abalala okulaba nga buli omu ky’akola akirinako obukugu.
Ssenkulu wa Majestic Brands Omuk. Remmie Kisakye asinzidde wano naye yebazizza abavujirizi abatambula n’Obwakabaka mu nteekateeka ez’enjawulo era ategeezeza nti bali mu nteekateeka okuzza obuggya endagaano ne bannamukago ab’enjawulo okwongera okutumbula empaka z’Amasaza, Ebika n’enteekateeka endala.
Ssenkulu wa Airtel mu Uganda Soumendra Sahu ayongedde okuwa obweyamu nti bbo, aba Airtel beteefuteefu okwongera okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka ezitali zimu, era ono ayozaayozezza n’Abekika ky’e Mmamba Kakoboza abaawangudde Engabo y’omupiira ogw’ebigere mu mizannyo gy’Ebika 2026.

Empaka z’Omupiira gw’Amasaza 2026 zaakutambulira ku mulamwa “Abasajja tubeere basaale mu kulwanyisa mukenenya tutaase omwana omuwala” era Amasaza gonna 18 gamala okusengekebwa mu bibinja 3; Bulange, Masengere ne Muganzirwazza.
Bulange: Buweekula, Buvuma, Buddu, Kyaddondo, Busujju ne Buluuli.
Muganzirwaza: Ssingo, Mawogola, Butambala, Kabula, Kooki ne Bugerere.
Masengere: Kyaggwe, Busiro, Bulemeezi, Gomba, Ssese ne Mawokota









