Bya Stephen Kulubasi
Ttiimu y’ESsaza Gomba eyiseewo okutuuka ku Fayinolo y’empaka z’ekikopo ky’Amasaza oluvannyuma lw’okukuba Buddu mu mupiira ogubadde ogwa vvawo mpitewo ku kisaawe kya Masaka Recreation Grounds. Ggoolo eyisizzawo Gomba eteebeddwa omusambi Keneth Kimera.
Omupiira guno gugenze okutandika nga Gomba y’eguli mu maaso oluvannyuma lw’okuwangula Buddu mu luzannya olwasooka ku mugatte gwa ggoolo 2 ku 1. Guno gwe mulundi ogw’omwenda nga Gomba etuuka ku fayinolo z’ekikopo kino nga ku munaana gyeyakatuukako ewanguddeko empaka 6.
Ate yo Bulemeezi egenda okuttunka ne Gomba ku Fayinolo ewandudde Mawokota ku mugatte gwa ggolo 4 ku 2 ku kisaawe kya Kasana Play Ground e Luweero mu kakodyo ak’okusimula peneti. Kino kiddiridde ttiimu zino okulemererwa okweteeba mu nzannya zombi. Bulemeezi ewezezza omulundi ogw’okuna ng’etuuka ku Fayinolo z’ekikopo ky’Amasaza.
Bulemeezi enaaba ettunka ne Gomba okulaba atwala engabo y’omwaka guno, nga Buddu ne Mawokota balwanira kifo kya kusatu ku lunaku olunaalangirirwa akakiiko akategeka empaka zino.