Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Ekikopo Ky’omupiira gwa m’aSsaza eky’omwaka guno kyongende okwoleka obumalirivu bwa tiimu ezalowoozebwa okubeera enafu okufukamiza zikyirimaanyi.
Oluzannya olusooka werutuukidde okukomekerezebwa, nga bannantameggwa b’omwaka oguwedde aba Bulemeezi, Gomba ne Buddu tezinakola bulungi songa Buluuli, Buwekula ne Ssingo tezinawangulwako.
Oluzannya luno era lulabikiddemu ebisomooza nga obubenje obwenjawulo okuli abawagizi ba Kyaggwe, emmotoka y’abasambi ba ttiimu y’Essaza Busiro yagwa ku kabenje, abawagizi ba Buluuli nabo baafuna akabenje, Omutendesi wa Ssese yagwa ku kabenje, Obusiiwufu bw’empisa okusingira ddala mu bawagizi ba tiimu ya Gomba, Bugerere n’abalala yadde nga kamalabyonna Charles Peter Mayiga yalabula ku busiwuufu bw’empisa ku ntandikwa y’empaka zino.
Wetutuukidde wano nga buli tiimu ezannye emipiira etaano okujjako Busiro ne Buvuma.
Okusinziira ku lukiiko oluteesiteesi olw’empaka zino, oluzannya olw’okubiri olwokuddingana lwakutandika nga 10 ne 11 August.