Bya Musasi waffe
Olukiiko oluteekateeka empaka z’amasaza ga Buganda lulabudde abazannyi n’abawagizi ku kukolera effujjo mu mpaka zino era nerusuubiza okukangavvula abanazuulwa nti bebakuliramu effujjo lino. Mu ngeri yeemu abantu basabiddwa okukuuma empisa baleme kuttattana kitiibwa kya mpaka kubanga ebigendererwa byazo bisinga okuwangula omupiira.
Okulabula kuno kuvudde wa Ssentebe w’olukiiko olutegeka empaka z’amasaza, Omuk. Hajji. Sulaiman Sejjengo bwabadde awumbawumba ebibadde mu nteekateeka y’okutalaaga amasaza agaatuuse ku luzaanya lwa ‘Quarter finals’ ng’eno ekomekkerezeddwa olwaleero. Omuk. Sejjengo ategeezezza nti ensobi zebabaloopedde mu kutalaaga kuno bagenda kuzikolako era n’asaba ne ttiimu zonna okumulungula ebirumira ebiri ku ludda lwaazo empaka zitambule bukwakku. Hajji. Sulaiman Sejjengo era asabye abantu okubeera abakkakkamu n’okuwangana ekitiibwa ku lw’obulungi by’empaka zino kubanga balina okutuukiriza ebigenderwa ebyazo Massomoogi byeyabalagira.
Omutendera gwa Quarter finals gugenda kuzannyibwa ku Sande eno nga 22 nga Kyadondo egenda kuttunka ne Busujju ku Bethen City stadium e Kiwenda, Kabula ezannye ne Buddu e Bakijulula, Mawokota eyambalagane ne Buwekula e Buwama, so nga batabani ba Ssekiboobo aba Kyaggwe bugenda kubeefuka ne Singo e Mukono ku Bishop SS.