Bya Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Empaka z’omupiira gw’ Amasaza ez’omwaka 2024 zitongozeddwa olwa leero mu Bulange e Mmengo era wano Kamalabyonna Charles Peter Mayiga wasinzidde nakuutira abavubuka okufaayo okutumbula ebitone byabwe era nakwasa ttiimu ez’enjawulo amateeka.
Wano kitegeerekese nti omupiira oguggulawo gugenda kuzannyibwa e Kasana mu Bulemeezi nga essaza lino ligenda kuttunka ne Buluuli ku Lwomukaaga luno.
” Nga tugenda mu mpaka z’Omwaka guno twongera okunnyikiza ensonga y’Empisa mu bazannyi, abawagizi, abalamuzi n’abatagesi nabuli yenna eyeetaba mu mpaka zino tusobole okunyweza omutindo gwazo. Twagala Abavubuka okwezuula n’okutumbula ebitone byabwe nga bukyaali okusobola okubifunamu. Twebaza abavujjirizi be tutambula nabo mu mpaka zino,” Kamalabyonna bw’alambise.
Katikkiro Mayiga annyonnyodde nti abavubuka bulijjo balina okukozesa omukisa nga bakyali bato okuyitimusa ebitone byabwe olwo nabyo bibayambe okuwangula obulamu.
Ono agamba nti abasambi, abaddukanya omuzannyo, abagulamula, naabagulaba, bwebanaayolesa empisa ennungi bajja kutuuka ku buwanguzi
Ye Minisita w’Ebyemizannyo, Abavubuka n’Ebitone, Owek. Robert Sserwanga agamba nti abantu abali eyo mu 3,2740 beebalaba omupiira gwa masaza buterevu songa abasukka obukadde 6 baali ku mikutu egy’enjawulo omwaka oguwedde bwatyo naakubiriza bantu okugujjumbira.
Owek. Sserwanga ayongeddeko ng’omwaka guno basoose nakutegeka empaka z’eggombolola nga zino zaazanyiddwamu emipiira 322, ate nga abazannyo 4375 bebazeetabyemu era waliwo ebitone ebipya ebyazuuliddwa.
Ono yeebazizza nnyo abakulembera omupiira mu masaza naabo abawaayo kyebalina ttiimu zino okiyimirirawo .
Omwami wa Kabaka akulembera essaza Bulemeezi, Kkangaawo Ronald Mulondo ategeezezza nti enteekateeka zonna ziwedde okulaba nti empaka zino zitambula bulungi era naasuubiza Bannabuleemezi okukomyawo obuwanguzi.
Akulira ttiimu ya Buluuli, Steven Bujingo agamba nti ku mulundi guno bafunye abasambi abato nga wadde Bulemeezi yeerina ekikopo basuubira okugiggyako obuwanguzi ku mulundi guno.
Ensisinkano eno yetabiddwamu ab’ebitiibwa abenjawulo, abaami ba masaza bannamikago, banna byamizannyo nabantu abalala bangi.