Bya Ssemakula John
Kampala
Uganda erinnyerinye mu nsi ezisinga okulima emmwanyi nga kati ekwata kifo kyamusanvu ku nsi ekumi ezisinga okulima emmwanyi mu nsi yonna.
Ekyama kino kyabikuddwa Ssenkulu wa Uganda Coffee Development Authority, Dr. Emmanuel Iyamulemye, nga ayita ku mukutu gwe ogwa Twitter.
Iyamulemye bino yabiggye mu kitongole ky’ensi yonna ekivunaanyizibwa ku mmwanyi ekya ‘International Coffee Organization’ mu bibalo byekyafulumizza mu 2020/2021 era Uganda yasobodde okuva mu kifo kya nnamba 8 nedda mu ky’omusanvu.
“Olugero lwa Uganda okulima emmwanyi lutandise okunyuma,” Iyamulemye bwe yannyonnyodde.
Ono agasseeko nti olw’okuba waliwo etteeka ly’ emmwanyi basuubira obungi okweyongerako. Era nasuubiza okukolagana n’ebitongole ebirala byonna okuyimusa omutindo gw’emmwanyi awamu nokuyambako abalimi.
Obungi bw’emmwanyi Uganda bwetunze mu myezi 12 egy’omwaka 2020/2021 buli kiro 6,078,638 60 nga zino zibalirirwamu obukadde bwa ddoola 559.26 nga buno bwalinnya bwogerageranya n’emmwanyi eziwera obukadde 5 (5,105,881) ez’omwaka oguwedde nga zaabalirirwamu obukadde 496.28 mu mwaka 2019/20.