• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Emmotoka ya Bobi Wine empya yandigenda, Kkooti ekkiriza URA okuddamu okugyekebejja

Gambuuze by Gambuuze
April 6, 2021
in Amawulire
0 0
0
Emmotoka ya Bobi Wine  empya yandigenda, Kkooti ekkiriza URA okuddamu okugyekebejja
0
SHARES
74
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John
Kampala

Emmotoka y’akulira ekibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi, amanyiddwa nga Bobi Wine etayitamu masasi, byonoonese oluvannyuma lwa kkooti okugaana okuyisa ekiragiro ekigaana ekitongole ky’emisolo ekya URA okuddamu okugyekebejja nga bwe yali asabye.
Bobi Wine yali yaddukira mu kkooti ng’asaba eyimirize ekitongole kya URA okuddamu okwekebejja emmotoka ye ng’agamba nti yagifuna mu mateeka era n’asasula emisolo gyonna egiragirwa mu mateeka era ne bagimuwa.
Kino kyaddirira Kamisona wa URA akola ku kuyingiza ebintu mu ggwanga, Abel Kagumire, okuwandiikira Kyagulanyi ng’amutegeeza nti emmotoka eno bagyetaaga okuddamu okugyekebejja n’okakasa oba yasasula emisolo mu butuufu bwaggyo.

Okusinziira ku Kagumire, emmotoka eno bwe yali eyingizibwa mu ggwanga baagiwandiika ng’eyabulijjo era balowooza nti emisolo gye yasasula giri wansi bwe kiba kituufu nti teyitamu masasi. Olwaleero Omulamuzi wa kkooti enkulu etawulula enkaayana agaanye okuyimiriza URA ng’agamba nti ensonga munnamateeka wa Kyagulanyi z’awa tezimatiza.
Omulamuzi Baguma ategeezezza nti okuwa ekiragiro nga Kyagulanyi ky’asaba, omuwaabi alina okukakasa kkooti nti ajja kufiirizibwa nnyo oba okukosebwa singa kibeera tekiweereddwa. “Okusinziira ku munnamateeka w’omuwaabi, ky’asinze okweraliikirira mu kuzzaayo emmotoka eno yeekebejjebwe kwe kuba nti omuwaabi gy’akozesa era yagifuna lwa byakwerinda bye. Naye kkooti eno tematidde na nsonga ezo,” Omulamuzi Baguma bw’agambye.

Omulamuzi Baguma agasseeko nti olw’okuba oludda oluwaabi lwalemeddwa okukakasa kkooti nti emmotoka eno bweddayo ajja kufiirizibwa oba okufuna obuvune obwamanyi okusaba kwe akugobye.
Kati kino kitegeeza nti singa Kyagulanyi alemwa okutwetwalirayo emmotoka ku URA, ekitongole kigenda kuginona mu maka ge kisobole okuddamu okugyekenneenya nga kkooti bw’eragidde.
Akalippo akalala ak’olekedde Kyagulanyi kwe kubeera nti emmotoka ezitayitamu masasi tezimala gayingizibwa mu ggwanga era omuntu okugireeta alina kusooka kufuna lukusa okuva mu ggye lya UPDF, ekintu Kyagulanyi kyataakola.
“Emmotoka ezitayitamu masasi tezimala gayingizibwa era amateeka tegakkiriza okutuusa ng’ofunye olukusa okuva mu UPDF era kyandigwanidde omukulu Kyagulanyi okukolagana obulungi ne URA okumalawo okusika omuguwa ku nsonga eno.” Ekitongole kya URA bwe kyategeeza.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist