Bya Miiro Shafik
Mmengo – Kyaddondo
Emizannyo gy’Ebika 2026 gitongozeddwa leero mu Bulange e Mmengo, ewabadde n’okukwata obululu obulaga ensengeka y’ebibinja.
Minisita w’Ebyemizannyo mu Buganda Owek. Robert Serwanga mu kutongoza emizannyo gino alambuludde enteekateeka zonna, n’akubiriza abakulembeze mu Bika okukunga abazzukulu okwetaba mu bungi mu kuzannyira Ebika byabwe ne mu ku biwagira.
“Enkyukakyuka nnyingi ezireeteddwa okwongera okusitula omutindo gw’emizannyo gy’Ebika, tewagenda kubaawo kusasula nsimbi za kwewandiisa eri buli kika ekigenda okwetaba mu mpaka z’ebika omwaka guno, twagala waleme kubaawo Kika kisigalira kubanga ensimbi ziganye oba obudde obuweereddwa butono” Minisita Serwanga.
Ategeezezza nti ensonga nnyingi eziwuluddwa ezibadde ziremesa ebika bingi okwetaba mu mpaka zino, wabula ng’esinze okuwulirwa y’eyensimbi ez’okwewandiisa, Ebika ebimu obutaba nazo, ssaako n’obudde bw’okwewandiisa okuggwako nga bangi bakyanonya ssente, akikaatiriza nti tewagenda kubaawo kusasula wabula buli Kika ekineetaba mu mpaka kifube kulaba nga kye wandiisa mu budde obulambikiddwa okusobola okwanguyiza olukiiko oluteesiteesi.
Minisita Serwanga ategeezeza nti mu ngeri ey’enjawulo mu kuggulawo emizannyo gy’ebika omwaka guno nga 2 Muzigo, wagenda kubaawo emizannyo mingi ddala gya lunaku lulamba, okusobola okuwa abantu ba Kabaka okunyumirwa, okumanyagana n’okunyweza obumu. Ayongoddeko nti okuyingira mu kisaawe e Wankulukuku empaka agye zigenda okuggulibwawo, buli Kika kiweereddwa omukisa okuyita abazzukulu bayingirire bwerere, kyokka abanajja nga ssi bayite bbo bajja kusasulayo ssente ku mulyango.

Mu birala ebipya mu mwaka guno, mu mupiira ogw’ebigere wagenda kubaawo emizannyo ebiri (2); ku ssaawa mwenda (3:00PM) Mmamba Namakaka ezannya Ngeye mu mupiira oguggyako ekifu ku maaso, ate ku ssaawa emu ey’akawungeezi (7:00PM), Omusu guzannya Nte. Emiryango gyakuggulwawo ssaawa bbiri ku makya, olwo ebika bittunke mu kubaka mu nzannya eyakazibwako “Gala” era okubaka kugenda kubeera kwa nnaku bbiri, kuliddamu n’enkeera nga 3 okulaba abeesogga oluzannya oluddirira olw’akamalirizo.
Minisita Serwanga ategeezeza nti abantu bagenda kubeera bayingira okuva ku makya okutuuka ekiro waleme kubaawo yekwasa budde era mu gimu ku mizannyo egigenda okunyumira abalabi kw’olwo kuliko; ekigwo, omweso n’emirala ate nga wagenda kubaawo n’okuyisa ekivvulu eri buli Kika nga bazzukulu baalyo bakutte ebipande ebyoleka Ekika mwe bwagwa. Wano ayongedde n’akuutira abakulembeze b’ebika okukunga bazzukulu baleme kuswala ku lunaku olwo nti Ekika tekiwera!
Owek. Serwanga akubirizza abateekateeka abazannyi okwewala okuleeta abatali ba Kika ekyo, era akikaatirizza nti omwaka guno buli muntu alina okufuba okuwangulira Emizannyo ku kisaawe okwewala embeera y’emisango emingi abantu nga banonya obuwanguzi mu kuloopa obuloopi.
Ye Gerald Katamba akiikiridde Ssentebe w’Olukiiko oluteekateeka empaka zino Owek. Sulaiman Magala, ategeezeza nti ekimu ku biwanguza abantu Emizannyo be bawagizi abazzamu abazannyi amaanyi, bwatyo n’akubiriza abakulembeze b’ebika okukunga bazzukulu baabwe mu bungi kibayambeko okuvuganya obulungi. Ono naye akuutidde abawandiisi ku nkiiko za ttiimu z’Ebika okuwaayo ebikwata ku bazannyi baabwe mu budde okusobola okwanguyiza olukiiko emirimu gyalwo.

Ebika 40 bye byewandiisizza okwetaba mu mpaka z’ebika mu mupiira ogw’ebigere omwaka guno, 8 ku zzo; Ngabi Nsamba, Ndiga, Nsenene, Kkobe, Ngabi Nnyunga, Mamba Kakoboza, Omutima Omusagi, ne Ngo zaakutandikira ku luzannya lwa ttiimu 16 ate endala 32 ne zisengekebwa mu bibinja 8 nga bwe biragiddwa wansi wano;
Ekibiina A
Butiko
Musu
Nte
Ffumbe
Ekibinja B
Mbogo
Nkusu
Ŋŋoonge
Nswaaswa
Ebibinja C
Njaza
Mmamba Namakaka
Ngeye
Nvubu
Ebibinja D
Mpindi
Kinyomo
Mbwa
Njobe
Ekibinja E
Lugave
Njovu
Nvuma
Mpeewo
Ekibinja F
Kasimba
Nsuma
Nnyonnyi Nnyange
Ndiisa
Ekibinja G
Nkima
Mutima Muyanja
Nkerebwe
Kibe
Ekibinja H
Olulyo Olulangira
Ŋŋaali
Nakinsinge
Ntalaganya
Enteekateeka y’okutongoza Emizannyo gy’Ebika 2026 yetabiddwamu abakulembeze ba ttiimu z’Ebika ku mitendera egy’enjawulo, aboolukiiko oluteesiteesi, bannamawulire n’abantu ba Buganda abalala bangi.









