Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi ewakanyizza ebigambibwa nti Ffaaza w’ekigo ky’e Bisanje mu Masaka eyateekeddwako emisango gy’obutemu, Rev Fr. Richard Mugisha girimu ebyobufuzi.
Kino kiddiridde okuteekebwako emisango gy’obutemu oluvannyuma lw’omubbi eyakwatibwa ng’agezaako okubba emmotoka y’ekika kya Harrier okufiira mu kaduukulu ka poliisi.
Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire ku Mmande, omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga ategeezezza nti ku lunaku olwogerwako, omuvubuka Ronald Kyeyune, 30, yakwatibwa ng’agezaako okubba emmotoka ya Ffaaza era n’akubibwa nga Ffaaza tannayita poliisi kutaasa mbeera.
“Omuvubuka ono yakwatibwa ku ssaawa 5 ez’ekiro ng’abba emmotoka, wano abavubuka n’abatuuze baatandika okumukuba era wano Ffaaza we yayitira poliisi y’e Masaka n’ejja okumutaasa. Poliisi we yatuukira ku ssaawa 7 ez’ekiro n’emutwala ku poliisi e Masaka.” Enanga bw’agambye.
Okusinziira ku Enanga, ku ssaawa 12:30 ng’obudde bukedde, abakuuma ekkomera baalaba omusibe ono nga tali mu mbeera nnungi era ne bategeeza abaliwo asobole okutwalibwa mu ddwaliro nga mu kaseera kano we yafiira.
Abamu ku batunuulizi b’ensonga, bavuddeyo ne bategeeza nga Ffaaza Mugisha bw’avunaanwa olw’ebigambo bye yayogera ng’eggwanga ligenda mu kulonda bwe yasaba abantu mu lwatu okulonda ekibiina kya NUP awamu ne Kyagulanyi Ssentamu ku bwapulezidenti.
Oluvannyuma lw’amawulire g’okuteekebwako emisango gy’obutemu, bangi baavuddeyo ne bategeeza nti bino biva ku bigambo bye yayogera nga’awagira aba Opozisoni.
Enanga agamba nti temuliimu byabufuzi era okunoonyereza kwonna kwe baliko kwekuusa ku ebyo ebyaliwo ku lunaku olwo, Kyeyune lwe yafa era baagala kulaba ng’amateeka gakola ku abo abaali emabega w’ekikolwa kino, basobole okuvunaanibwa so si lwa ndowooza za byabufuzi ng’abamu bwe babadde bagamba.
Ono agamba nti nga poliisi bagenda kusigala nga banoonyereza ku nsonga eno wasobole okubaawo obwenkanya.