
Bya Gerald Mulindwa
Kibuli -Kyaddondo
Omukulembeze w’ensisikirano ow’ekitundu kya Sarkin Kano mu Nigeria, Alhaji Aminu Ado Bayero agenyiwaddeko mu ggwanga nasisinkana, Omulangira Kassim Nakibinge Kakungulu.
Ensisinkano eno eyindidde ku kasozi Kibuli mu Kampala ng’eno yeetabye nemu kusaala Juma ku muzikiti e Kibuli ku Lwokutaano ng’eno ayaniriziddwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Minisita w’obuyiiya n’enzirukanya y’emirimu mu Bwakabaka, Twaha Kaawaase Kigongo.
Owek Kaawaase amwanjulidde abaddu ba Allah abeetabye mu Juma eno, omugenyi ono n’ensonga ezimuleese omuli okusisinkana bannamakolero, okulambula ebifo ebyenjawulo, wamu n’okusisinkana Omulangira Kassim Nakibinge.

Prof. Kaawaase abajjukizza nga Ssaabasajja Kabaka bweyamutuwa e Nigeria akiikirire Obwakabaka ku mikolo egy’ennono egya Emir, olw’enkolagana eyo wakati w’obukulembeze bwombi obw’ennono, yeemu ku nsonga lwaki okukyala kwa Emir mu Uganda kwa nkizo nnyo eri Buganda ne Uganda.
Emir, Sarkin Kano Alhajj Aminu Ado Bayero, ayogeddeko eri abayisiraamu neyeebaza ennyaniriza ennungi era naalaga nga bwekiri ekirungi okussaawo enkolagana n’abantu ab’enjawulo okusobozesa okugunjaawo enkulaakulana eyannamaddala.
Oluvannyuma lwa Juma, Omulangira Kassim Nakibinge akyazizza Emir ku kijjulo ekitegekeddwa mu Makaage e Kibuli wano mu Kampala.









