Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, ategeezezza nti emikolo egy’ennono egikolebwa ku Ssaabasajja Kabaka ku mikolo gy’Amatikkira omulundi guno tegigenda kukolebwa ku Lwomukaaga luno, olw’okwetangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
“Ennono nkulu nnyo mu Matikkira naye bw’eba eyinza okuleeta omutawaana, tugyewala. Omwaka oguwedde Kabaka teyakongojjebwa, ndeese kyakulabirako. N’omwaka guno tajja kukongojjebwa kuba okukongojja Kabaka kireeta abantu bangi, amukongojja tabeera bw’omu, abeera yeebunguluddwa ab’embogo n’abalala. Emikolo egimu tujja kugibuuza olw’okwewala obulwadde.” Owek. Mayiga bw’alung’amizza.
Bino Kamalabyonna Mayiga abyogeredde mu Bulange ku Lwokuna mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’awerekeddwako omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Robert Waggwa Nsibirwa ne Minisita w’ebyamawulire, Noah Kiyimba.
Ono asiimye bannayuganda okuva mu bitundu ebyenjawulo, abakolaganye obulungi ne Buganda mu myaka 28 egiyise.
Owek. Mayiga annyonnyodde nti wadde abantu baatandise dda okuzimba ebiyitirirwa, naye bo ng’abategesi enteekateeka eno tebagyetabyemu olw’obutayagala bantu kukung’aana. Wabula n’agamba nti kizibu okulemesa abantu okukung’aana era abasabye okujaguliza mu maka gaabwe beewale okukung’aana.
Katikkiro Mayiga ategeezezza nti olw’okuba Amatikkira g’omwaka guno okufaananako n’oguwedde, gatuukidde mu kiseera ng’eggwanga lirwanyisa Corona, abantu basaanye okusigala ku bwerinde, kisobole okubataasa ku kirwadde kino.
Ono agambye nti olw’ekirwadde kino, abagenyi abayitiddwa batono nnyo naye baakufuba okulaba nti buli mutendera nga gavumenti eyaawakati, abaami b’amasaza, olulyo Olulangira, bannaddiini ne bannabyabufuzi, bafuna ababakiikiridde.
“Okuyita abantu ab’olubatu tewali muntu yenna yeerabiddwa naye tuluubirira okwetangira COVID-19. Obwakabaka kitegeeza bantu ate abantu abasobola okuzza Buganda ku ntikko be bantu abalamu.”Owek. Mayiga bw’agasseeko.
Katikkiro Mayiga annyonnyodde nti buli kifo mu Lubiri lwonna kijja kufuuyirwa eggulolimu, okusobola okutangira akawuka ka Corona era ng’ekiwu ne weema abagenyi we bagenda okutuuzibwa bitegekeddwa nga bigoberera ennambika y’ekisawo.
Abantu abalala, abasabye okugoberera emikolo ku ttivvi n’emitimbagano era n’abakubiriza okusimba emiti egy’ekijjukizo, kiyambe okwongera okukuuma obutonde bw’ensi.
Emikolo gy’okujjukira Amatikkira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 28, gigenda kukwatibwa ku Lwomukaaga nga 31/07/2021 mu Lubiri e Nkoni mu Buddu.