Bya Ssemakula John
Kampala
Gavumenti ya Uganda etadde omukolo ku ‘airtime ne data’ ng’omu ku kaweefube w’okwongera okufuna ensimbi ezinaakozesebwa mu mbalirira eno ey’omwaka 2021/ 20221 ebalirirwamu obuse 44 n’obuwumbi 7.
Mu mbalirira eno, gavumenti esuubira obuse 22. 4 okubuggya mu bannayuganda munda mu ggwanga.
Ku zin, obuse 20.8 zigenda kuggyibwa ku musolo ate obuse obuwera 1.5 ebuggye ku bintu ebirala nga engassi n’ebintu ebirala ebitali musolo.
Bw’abadde asoma embalirira eno, Minisita omubeezi ow’ebyensimbi, Amos Lugoloobi, ategeezezza Palamenti nti gavumenti yasazeewo okuggyawo omusolo gwa OTT n’ereeta ogwa Data ne Airtime.
Okusooka nga bateekateeka embalirira eno, eyali Minisitule w’ebyensimbi yategeeza Palamenti nga bannayuganda bwe baali basusse okwepena omusolo gwa OTT nga bakozesa enkola ya VPN.
Minisita Lugoloobi annyonnyodde nti gavumenti ereese omusolo gwa bitundu 12.0% (12 ku buli 100) ku Airtime ne Data wabula n’agattako nti abakozesa emikutu gy’emitimbagano egisomesa bo si baakusasula musolo guno.
Mu ngeri y’emu gavumenti etadde omusolo ku nnuuni z’emputa gwa bitundu 7% (7 ku buli 100) etwalibwa ebweru.
Kino kiddiridde gavumenti ya Uganda okukkiriziganya ne China okutandika okutundayo ennuuni butereevu nga bayitira mu Minisitule y’ebyobulimi n’obulunzi awamu n’obuvubi eyakwasiddwa Minisita Frank Tumwebaze.
Ennuuni y’emu ku bintu ebyettunzi ku katale k’ensi yonna nga kkiro egula wakati w’akakadde kamu n’emitwalo nkaaga (1.6M) n’obukadde 3 n’emitwalo nkaaga (3.6M).
Eno bagikozesa mu kulongoosa abantu, okukola ebimu ku bitundu by’ennyonyi, eddagala ate waliwo n’amawanga agagirya ng’emmere ekigifudde eyettunzi n’evuganya n’ebintu ebirala ng’amafuta.
Waliwo omusolo omulala ogw’ebitundu 5 ku buli 100 ne 10 ku buli 100 ku by’obugagga eby’omuttaka nga zzaabu esunsuddwa n’atannaba era mu ngeri y’emu gavumenti etadde omusolo ku bintu byonna ebikolebwa n’okuyingizibwa mu ggwanga nga bya Pulasitiki.