• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ekyoto mu kujaguza Amatikkira omulundi ogwa 33 mu Kyaddondo

Gambuuze by Gambuuze
July 26, 2026
in Amawulire
0 0
0
Ekyoto mu kujaguza Amatikkira omulundi ogwa 33 mu Kyaddondo
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Musasi waffe

Abantu ba Kabaka mu Kyaddondo bakumye ekyoto ky’amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka ag’omulundi ogwa 33 ku mbuga y’e Ssaza e Kasangati.

Omugenyi Omukulu ku kyoto kino abadde Minisita w’enkulaakulana y’Abantu Oweek. Choltilda Kikomeko, ng’ono ayaniriziddwa Omwami w’e Ssaza Hajji Ahmed Matovu Magandazi, Omumyuka wa Kaggo Asooka Mw. Ronald Mpagi, Omukiise w’e Ssaza mu Lukiko lwa Buganda Oweek. Jane Francis Lukwago, Abaami ba Ggombolola okubadde Musaale Busukuma, Mutuba I Nangabo, Mumyuka Nakawa, Mutuba etaano Kawempe n’Olukiiko lw’e Ssaza olukulembeze.

Abantu abeetabye ku kyoto babadde bangi ddala era nga banyumiddwa obubaka okuva mu basomesa ab’enjawulo okuli; Mw. Ssali Damascus, Omulezi w’e Ssaza Oweek. Nabukenya Christine, Omusawo Dr. Ndugga Frank n’abalala bangi. Ebisomeseddwa byonna byesigamiziddwa ku kukuuma obuwangwa n’okwetangira endwadde eziva mu bukyafu okugeza Ebola.

Omwami w’Essaza Kyaddondo, Kaggo Oweek Hajji Ahmed Magandaazi Matovu, asanyukidde nnyo amasomero agaweerezza Abaana mu nteekateeka eno, neyebaza Ssentebe w’Abavubuka mu Ssaza Muddu Thomas, n’abaweereza mu Ssaza ku mitendera egy’enjawulo abakoze obutassa mukka okusobozesa enteekateeka okutambula obulungi.

Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko, asanyukidde entegeka y’omukolo n’ategeeza nga bwe gwongedde okujjayo ekitiibwa ky’Ekyoto mu Buganda. Ajjukizza Abantu ba Kabaka bonna ku ntekateeka z’Obwakabaka, omuli n’Amatikkira wiiki ejja, era n’abasaba okwenyigiramu.

Ebikujjuko bino byetabiddwaako Abantu ba Ssaabasajja okuva mu Kyaddondo, Abakulembeze, Amasomero, n’Abawereza. Wabula wadde nga Ekyoto ekikulu mu Buganda kibadde ku Mbuga y’e Ssaza Kyaddondo e Kasangati, ebyoto ku Mbuga z’e Ggombolola zonna okwetoloola Obuganda bikumiddwa mu buwufu bw’omulamwa, “Tubeere bavumu mu kukuuma obuwangwa bwaffe”.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist