Katikkiro Charles Peter Mayiga yabaddewo nga omugenyi omukulu ku ukolo guno ogukwatiddwa ku Imperial Royale mu Kampala.
Ekyegulo kino kitegekeddwa n’ekirubirirwa eky’okuzimba eddwaliro ewatuukirwa abagudde ku bubenje ku luguudo lw’Emasaka e Nkozi. Wano Katikkiro wasabidde era nakubiriza abantu bonna awamu ne Gavumenti eya wakati okujumbira n’okuduukirira omulanga guno okusobola okutaasa obulamu bwa bantu abafuna obubenje buli lunaku.
Aba Rotary Uganda bebawomyemu omutwe mu kuteekateek ekyeggulo kino era nga sente ezivaamu zakuyambako okuzimba eddwaliro lino ery’Enkozi ku luguudo lwe Masaka. Kigambibwa nti buli lunaku abantu kumi bafa akabenje wano mu Uganda