Bya Ssemakula John
Kampala
Minisita w’ebyamawulire n’okulung’amya eggwanga, Dr. Chris Baryomunsi ategeezezza nga eky’ababaka ku ludda oluvuganya okwekandagga ne bafuluma Palamenti nti, tekirina ngeri yonna gye kigenda kutataaganyaamu mirimu gya Palamenti.
Okusinziira ku Baryomunsi, ababaka ba NRM bangi, ekimala okuweza omuwendo gw’essalira ogukkirizibwa Palamenti okugenda mu maaso.
Kino kiddiridde ababaka ba Opozisoni okulangirira ku Lwokusatu nga bwe batagenda kuddamu kulinnya kigere mu Palamenti okutuusa nga bannaabwe okuli; Allan Ssewanyana ne Muhammad Ssegirinya, bayimbuddwa mu bwenkanya.
Ssewanyana ne Ssegirinya bavunaanwa emisango egyekuusa ku ttemu ly’ebijambiya e Masaka awamu n’obutujju era babadde bakaddamu okukwatibwa oluvannyuma lw’okuyimbulwa ku kakalu ka kkooti.
“Aba Opozisoni basobola okwekandagga ne bafuluma naye tekisobola kulemesa Palamenti kugenda mu maaso. Batono nnyo mu Palamenti era ne we batali tubadde tutuula.” Baryomunsi bw’ategeezezza bannamawulire.
Ono annyonnyodde nti nga gavumenti baakugenda mu maaso n’okukola emirimu gyabwe mu Palamenti okutuusa ng’aba Opozisoni beenyudde ne bakomawo.
Baryomunsi agamba nti aba Opozisoni okwekandagga kyabadde tekyetaagisa kuba ababaka bano bajja kuyimbulwa mu kaseera akatuufu kuba okunoonyereza ku misango gyabwe kugenda mu maaso.
Abakulembeze ab’enjawulo naddala ku ludda oluvuganya batenderezza ekikolwa kya Opozisoni kino eky’okufuluma.
Omuloodi wa Kampala era munnamateeka w’ababaka bano, Erias Lukwago yalaze nti kyabadde kigwanidde era baakikoze mu mirembe kuba baabadde balaga obutali bumativu ku ngeri ensonga eno gy’ekwatiddwamu.