Bya Ssemakula John
Kampala
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, ategeezezezza nga bwe batandiseeko ku nteekateeka y’okulaba nga bakuuma ettaka ly’embuga za Buganda n’okulikulaakulanya wakati mu kugoberera ennono ate n’Obwakabaka busobole okufunamu ensimbi.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/09/vlcsnap-2020-09-29-19h29m40s507-1024x576.png)
Nsibirwa agambye nti okuzimba ebizimbe y’emu ku engeri gye bagenda okutaasa ettaka ly’Obwakabaka ku balyesenzaako awamu n’okusakira eggwanika lya Buganda.
Bino Nsibirwa abyogeredde mu kulambula ebizimbe ebibiri ebizimbibwa ku mbuga y’essaza e Kasangati awamu n’ekizimbibwa e Makindye olwaleero ku Lwokubiri, n’atendereza amaanyi agateereddwamu ku mulimu guno.
“Entambula y’omulimu gw’e Kasangati ezzaamu amaanyi ate n’ekyobusubuuzi e Kasangati nabyo bizzaamu amaanyi. Tusuubira omulimu gw’e Kasangati okuggwa omwaka guno ate ogw’ekizimbe ky’e Makindye guggwe mu makkati g’omwaka ogujja.” Owek. Nsibirwa bw’ategeezezza.
Ono ayongeddeko nti, Buganda erina obuvunaanyizibwa bungi okuli okutumbula embeera z’abantu ba Kabaka, okuweerera abaana n’okutumbula ebyobulimi nga byonna byetaaga ensimbi era nga lino lye limu ku makubo ge batandise okuvujjirira emirimu gino.
Nsibirwa asiimye ssentebe wa boodi ya Nnamulondo Investments Ltd awamu n’abakozi bonna aba kkampuni eno, olw’omulimu ogukoleddwa wakati mu bukugu era ng’okusinziira we guli, guweesa Obwakabaka ekitiibwa.
Owek. Nsibirwa alambuziddwa akulira okuzimba mu kkampuni ya JVCKON Limited ekifo kyonna, okulaba omulimu we gutuuse era okusinziira ku mukugu ono, ebisinga ku kizimbe kino biwedde.
Omuwanika Nsibirwa oluvannyuma agenze ku kizimbe ky’e Makindye Ssaabagabo era ng’eno nayo abakugu bamulaze omulimu we gutuuse.
Ssenkulu w’ekitongole ky’Obwakabaka ekivunaanyizibwa ku kulabirira ebizimbe ekya Nnamulondo Investments, Omuk. Lilian Kaddu, ategeezezza nti ekizimbe kino kiri ku mutindo nga kizimbiddwa n’obukugu nga bagoberera amateeka ga KCCA.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/09/vlcsnap-2020-09-29-19h54m24s257-1024x576.png)
Kaddu annyonnyodde nti ebizimbe bino bwe binaggwa, bigenda kuganjulwa amasaza gyebiri kubanga ensimbi ezibivaamu waliwo omutemwa ogulina okuddayo ku ssaza, ziyambeko ku mirimu.