Ekiwanyi mu kibiina ky’ebyobufuzi ekisinga obukulu mu ggwanga ekya Democratic Party, kirangiridde nti kigenda kuwagira Bobi Wine mu kalulu 2021.
Bobi Wine nga amannya ge amatuufu ye Robert Kyagulanyi yalangirira nti agenda kwesimbawo ku bwa pulezidenti okuvuganya Yoweri Museveni.
Ssaabawandiisi w’ekibiina kino Medard Lubega Sseggona ng’era ye mubaka akiikirira obuvanjuba bw’essaza ly’e Busiro yategeezezza nti newankubadde nga Norbert Mao, akulira ekiwayi kya DP ekirala yalangirira nti naye agenda kwesimbawo, bbo, sibaakumuwagira.
“Tetulina buzibu na Mao singa atuwa embalirira eraga butya bwakozesezza ssente z’ekibiina,” Sseggona bweyagambye.
Gyebuvuddeko ekiwayi kya DP kyalonda Matia Lwanga Bwanika okuba ssentebe w’ekibiina omuggya, Mary Babirye Kabanda ng’omuwanika w’ekibiina ng’amyukibwa Patrick Katuramu ate Rachel Kagoya n’alondebwa okumyuka akulira abakyala.
URN