Bya Ssemakula John
Kampala
Minisita w’ensonga ez’omunda mu ggwanga, Gen. Jeje Odongo, ategeezezza nti abantu 31 abazze bawambibwa mu bitundu naddala ebya Buganda okuli; Kampala n’emiriraano, Mukono wamu ne Masaka, gavumenti temanyi gye bali.
Bino Minisita Odongo yabitegeezezza Palamenti eggulo ku Lwokuna ababaka bwe baamutadde kunninga annyonnyole ku bawagizi b’oludda oluvuganya abawambibwa ab’ebyokwerinda abatambulira mu mmotoka kika kya ‘Drone’ ezitaliiko nnamba.
Okusinziira ku Minisita Odongo abamu ku bantu ababadde bagambibwa okubula bazuuse ate abalala bakwatibwa ab’ebyokwerinda ku misango egyekuusa ku kutabangula eby’okwerinda ne bakola siteetimenti n’oluvannyuma ne bayimbulwa ku kakalu ka poliisi. “Ku bigambibwa nti Lumu Ronald, Kabaale Benard, Mugarura Ronald ne Shafik baawambibwa.
Ekituufu bano baakwatibwa era ne baggulwako omusango ku fayiro nnamba SID GtiF 196/2020. Baabuuzibwa kye bamanyi era ne bayimbulwa ku kakalu ka kkooti.” Odongo bwe yategeezezza Palamenti.
Gen. Odongo yagambye nti okunoonyereza ku bantu abalala 8 abagambibwa okuwambibwa ab’ebyokwerinda abali mu mmotoka ezitaliiko nnamba.
Ono yannyonnyodde Palamenti nti ebitabo byabwe biraga nti abantu 44 be bagambibwa okuwambibwa naye 31 ku bano tebamanyi gye bali naye n’asuubiza okutegeeza eggwanga bwe wanaabaawo ekizuuliddwa.
Kinajjukirwa nti ku Mmande, amyuka Ssaabaduumizi wa Poliisi, Maj.Gen.Paul Lokech, yalagidde akulira okunoonyereza ku misango mu poliisi, Grace Akullo wamu n’akulira eby’okuketta mu poliisi, AIGP Chris Serunjogi Ddamulira, okumuwa olukalala lw’abantu bonna abaawambibwa ab’ebyokwerinda.
Minisita Odongo yasabye bannayuganda wamu ne Palamenti okutegeeza poliisi ku bantu bonna abayinza okuba nga baawambibwa era baakunoonyereza ku buli musango ogubatwalibwa okuzuula ekituufu.