• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ekitundu okubeera  n’enkola eya Federo tekinafuya gavumenti ya wakati – Katikkiro Mayiga

Gambuuze by Gambuuze
May 17, 2023
in Amawulire
0 0
0
Ekitundu okubeera  n’enkola eya Federo tekinafuya gavumenti ya wakati – Katikkiro Mayiga
0
SHARES
69
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya  Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Katikkiro Charles Peter Mayiga azzeemu okuggumiza obwetaavu bw’enfuga eya Federo okusobola okutuusa empeereza n’enkulaakulana eggwanidde ku bantu b’ebitundu eby’enjawulo.

Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuweeredde mu nsisinkano gyabaddemu  n’abayivu okuva ku  Ssettendekero wa Utah Leadership Academy asangibwa mu Amerika abagenyiwaddeko mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.

“Enkola eya Federo ewa abantu mu mawanga ekyanya buli kitundu okulaakulanya ebyakyo eby’omunda. Okuba n’enkola  eya Federo tekinafuya gavumenti ya wakati wabula kigiggyako omugugu gw’okulabirira buli kalonda ali mu buli kitundu,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.

Owek.  Mayiga  agamba nti tekikola makulu bantu kukabirira gavumenti ku buli kizibu ekibeera kiguddewo olw’okuba gavumenti zabwe ez’ebitundu tezirina buyinza bwonna kuba buli kimu kyateekebwa  wakati.

Kamalabyonna Mayiga agamba nti gavumenti bano gyebakaabira naye erina obuvunaanyizibwa obugitutte ebirowoozo nga muno mulimu eby’okwerinda n’ebyenfuna, enkolagana n’amawanga amalala nebalemwa okubaako obuyambi bwebakola.

Akulembeddemu abayivu bano, Prof. Andrew Bibi agamba nti balowooza ng’enkola ey’okubagana obuyinza yesobola okutumbula embeera z’abantu kuba babeera bamanyi ekituufu kyebeetaaga mu mbeera ez’enjawulo.

Kakensa Andrew Bibi annyonnyodde nti enkulaakulana etuuseewo mu Amerika ebadde nakakwate ku Federo kuba basobola bulungi okuteekawo obwerufu n’okuteeka gavumenti ku nninga kwebyo byeyasigaza okukola.

Eyaleese abagenyi bano embuga, Katikkiro eyawummula Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere ategeezezza nti Settendekero ono akwatagana ne Federo era abantu balina okumanya nti Federo tegendereddwamu kusosola mu mawanga wabula kuligatta.

Ensisinkano eno yeetabiddwamu baminisita okuli ow’Amawulire Noah Kiyimba, Ow’ebyemizannyo n’Abavubuka Henry Ssekabembe Kiberu n’abakungu abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist