Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Ekitongole ky’Obwakabaka ekivunaanyizibwa ku kutunda n’okutumbula ekifananyi kyabwo ki Majestic Brands kifunye bboodi empya okwongera okutumbula emirimu.
Bw’abadde atongoza bboodi eno, mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu, Katikkiro Charles Peter Mayiga asiimye olukiiko olukadde olw’omulimu amakula ogukoleddwa.
“Kiba kizibu okukola nabamanyi ate nosemba, olw’okubanga bboodi eno eriko abamanyi era abantu abalina obumanyirivu obwamanyi era abakozi sirina kubuusabuusa nti tugenda kutambula nga tudda mu maaso. Mbeebaza okukkiriza obuweereza,” Katikkiro Mayiga.
Owek. Mayiga abasabye obutalowooza nti obuvunaanyizibwa obubaweereddwa bwa Nnakyewa kuba Obuganda bwabwe era beebagala emirembe egirijja okumanya nti baakola nabeebaza okukkiriza obuvunaanyizibwa buno.
Mayiga agambye nti okuva Kabaka lweyamuwa obuvunaanyizibwa ekintu ku bintu ebyenkizo Buganda byekoze kwekutondawo ekitongole ki Majestic Brands ekyayamba okulung’amya entambuza y’emirimu mu Buganda ekireseewo enkulaakulana.
Ono annyonnyodde nti ekifananyi ky’Obwakabaka bwa Buganda kyekimu ku by’Obugagga, abaganda byebalina era ekifananyi kino kye kitiibwa kya Ssaabasajja Kabaka nasaba bakiwanirire, bakiyitimuse era bakimanyise ab’ebweru.
Ow’omumbuga ategeezezza nti wadde emyaka 8 egiyise basobodde okutambulako, nga bavudde wala ku maanyi, okwewaayo n’obumanyirivu bwabo ababadde ku bboodi ewummudde nasaba bboodi empya okutwala omulimu guno mu maaso.
Minisita avunaanyizibwa ku byensimbi nÓbusuubuzi mu Bwakabaka era nga ye mumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek Robert Waggwa Nsibirwa ,yeebazizza ba mmemba abawummudde ku lukiiko luno olwebirungi byebakoze mu Bwakabaka, omubadde okuwagira ebyemizannyo nga tebeebalira, okulwanyisa Mukenenya nÓkusitula embeera zábantu mu Bwakabaka.
Ssentebe wa boodi ya Majestic Brands omuggya, Omuk Robert Nsereko agambye nti wakwesigama nnyo ku nkola ejjuddemu obulambulukufu , naawa obweyamo obw’okuweereza Kabakawe nÓbwakabaka mu bwerufu n’okwagala.
Bboodi eno ekulemberwa Omw. Robert Nsereko nga abalala abagiriko ye Omuk. Remmy Kisaakye, Omuk Fred Masadde Kabuye, Omuk. John kizito Kaggwa, Omuk. John Kitenda, Omuk. Adrian R Bukenya Mulindwa ne Sofie Nantongo.