Bya Ssemakula John
Kampala
Essiga eddamuzi mu ggwanga lyegaanye ebiyiting’ana ku mitimbagano nga bwe kirina omukono mu kya munnamateeka Bob Kasango okufiira mu kkomera.
Kasango ow’emyaka 46 yafiiridde mu kkomera lya Murchison Bay e Luzira ku Lwomukaaga (February 27) era kyakakasiddwa nti yafudde kirwadde kya mutima ekimaze ebbanga nga kimutawaanya.
“Okufa kwe kkonde ddene, era ekitongike ekiramuzi kinyolererwa wamu n’abenju ye awamu n’emikwano.” Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa ekitongole ekiramuzi bwe kisomye. Bano bagasseeko nti, “Twagala okulungamya ku kifaananyi ekisingibwa nti ekitongole ekiramuzi nti kyabadde n’omukono mu nfa ya Kasango.”
Kinajjukirwa nti, Kasango n’abakungu ba gavumenti abalala basatu wakati w’omwaka gwa 2016 ne 2018 baavunaanibwa mu kkooti enkulu ewozesa abalyake n’abakenuzi ku misango egyekuusa ku kubulankanya ssente obuwumbi 15.4 ezaali ez’akasiimo k’abakozi.
Nga 21 Decemba, 2018 bano bonna omusango gw’abasinga era Kasango n’akaligibwa emyaka 16 ku misango okwali okwekobaana okubba ssente, okwekobaana okuzza omusango, okujingirira ebiwandiiko bya kkooti awamu n’obubbi.
Kasango era yalagirwa okuliyirira gavumenti obuwumbi bwa ssiringi za Uganda 5 olw’ebyo bye yakola.
Ono yajulira mu kkooti ejulirirwamu ku misango wamu n’okumusindika mu kkomera naye w’afiiridde nga kkooti tennasalawo ku kujulirira kwe.
Kyategeerekeka nti mu kiseera ng’asibiddwa, Kasango yagezaako okusaba omulamuzi omu okweyimirira Waakiri awoze ng’ava bweru wabula n’agaana era tewali nsonga yaweebwa.
Ono yaddamu n’ajulira eri abalamuzi basatu (3), naye era nekitasobola wadde ku mulundi guno ensonga zaaweebwa.
“Noolwekyo kikyamu eri omuntu yenna okwekwasa ekitongole ekiramuzi kuba tekirina kikyamu kye kyakola kuba yali egoberera mateeka era bwekutyo n’okufa kwe ekitongole tekikulinamu mukono.” Ekiwandiiko bwe kinnyonnyola.