Bya Gerald Mulindwa
Mawokota
Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, ategeezezza nti ekitiibwa kya Buganda tekirina kulabikira mu baami ba Ssaabasajja Kabaka bokka naye ne wansi mu bantu ng’eno y’ensonga lwaki Obwakabaka bulijjo bwagala okutumbula embeera z’abantu baabwo.
Bino Kamalabyonna abyogeredde mu Mawokota ng’aggalawo omwaka gwe Emmwanyi Terimba 2020 wamu n’okutema evvuunike ery’okuzimbira Mukyala Margaret Nakiganda ennyumba mu nteekateeka y’Obwakabaka ne Habitant for Humanity ey’okuzimbira abeetaavu, ennyumba ku kyalo Kiryambidde e Butoolo.
“Tuyimbye ekitiibwa kya Buganda wano ne tugamba nti kyava dda naye ekitiibwa kino tekirina kulabikira mu ffe abaami. Ekitiibwa kirina kulabikira mu bantu ba Kabaka kubanga Buganda bantu.” Mayiga bw’agambye.
Mayiga agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bugagga nnyo kasita abantu b’Omutanda basalawo okukolera awamu ku nteekateeka ez’enjawulo.
Katikkiro Mayiga agambye nti singa ekitiibwa kiyimbibwa mu bantu abeetaavu awatali nteekateeka yonna yakubajuna kuba ng’okwekiina era n’asaba abantu mu Buganda bulijjo okuyamba abali mu bwetaavu.
Ono agambye nti enteekateeka zonna Buganda z’ekola omuli eya Emmwanyi Terimba n’okujuna abeetaaga okubeera, zonna zisoosowaza bantu basobole okutumbula embeera zaabwe.
Asiimye bannamikago abatambula ne Buganda, okutumbula embeera z’abantu olw’okuwaayo n’okweyama okukyusa obulamu bw’abantu b’Omutanda basobole okufuna ekitiibwa kyabwe nga babazimbira ennyumba.
Mukuumaddamula era asinzidde Kiryambidde mu Mawokota n’atongoza akakiiko k’abantu 16 ak’abagenda okulondoola omukago gwa Habitant for Humanity n’Obwakabaka.
Akakiiko kano kakulirwa; Owek. Waggwa Nsibirwa, Owek. Mariam Nkalubo Mayanja, Owek. Joseph Kawuki, Omukugu Robert Otim, Roland Ssebuufu n’omuk. Peter Zaake awamu n’abalala.
Omwami w’essaza Mawokota, Gabriel Kabonge ategeezezza Kamalabyonna nti, asiimye Omutanda olw’okulumirwa abantu be ng’abazimbira ennyumba basobole okukyusa obulamu.
Omukolo guno gwetabiddwako Omulangira David Kintu Wasajja, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, baminisita n’abakungu ba Ssaabasajja Kabaka abalala bangi.