Musasi waffe
Minisita avunanyizibwa ku Mawulire, Abagenyi, Kabineeti era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek. Noah Kiyimba agambye nti ekitebe ky’America mu Uganda tekirina ssente zonna z’ekibanja Bwakabaka bwa Buganda.
Oweek. Kiyimba okuvaayo kidiridde ebibadde bibungeesebwa ku mikutu egy’enjawulo nti Abamerica babanja Obwakabaka essente nnyingi nnyo.
Kiyimba ayonnyodde nti kituufu Ekitebe kya America mu Uganda kyawa Obwakabaka doola 5000[ezaawano obukadde nga kumi n’abutaano obudde obwo] okuzikozesa okussaawo ebipande mu Masiro e Kasubi.
“Essente zino zaalina okukozesebwa mu kadde akagere naye kino tekyasoboka olw’omulimu gw’okuzzaawo amasiro gano ogugenda mu maaso kati. N’olwekyo Obwakabaka bwazzaayo ssente zino nga January 12, 2017 era nebuweebwa lisiiti,” Kiyimba bwagambye.
Ate ye omwogezi w’ekitebe ky’America mu Uganda Phil Dimon naye yakakasizza nti kituufu tebabanja Bwakabaka.
“Kituufu Obwakabaka twabuwa ssente okubaako emirimu gye bukola mu masiro e Kasubi newankubadde kino tekyasoboka. Okusinziira kunkola yaffe, twabasaba ssente zino bazizze ekintu ekyakolebwa,” Dimon bweyagambye.
Ayongeddeko nti gavumenti ya America ewagira enteekateeka zino okwetooloola ensi yonna ng’era bagenda kugenda mu maaso ng’abakolagana n’Obwakabaka mu ngeri eno.