Musasi waffe
Minisita avunanyizibwa ku nkulaakulana y’abantu Oweek. Dr Prosperous Nankindu Kavuma agambye nti ekiseera kituuse okukomya abaana abazaalibwa n’obulwadde bwa Sicklecells [Nalubiri] mu Uganda. Mu nsisinkano gyabaddemu n’akulira ekitongole kya Holly Foundation ekikola ku kulwanyisa obulwadde bwa Nalubiri, Mable Nakato Muwanga, Nankindu ategeezezza nti obulwadde buno buviiriddeko amaka mangi okutabanguka. “Tetusobola kwongera kuzaala baana abalina sickle cells olw’ebizibu ebingi bwebuleese omuli obwavu kubanga abazadde tebava mu malwaliro. Tetwagala muwendo gw’abaana abalina sickel cell kweyongera olwo lwetunaasobola okulwanyisa obulwadde buno,” Nankindu bwategeezezza. Ku lulwe, Muwanga ategeezezza nti okutandika Holly Foundation kyali kirooto kya muwalawe Holly eyaffa ekirwadde kya Nalubiri ng’alina emyaka 17. “Yali mu ddwaliro e Bungereza nagamba tusobola tutya okuyamba abantu, nemugamba tusooke tufe kuggwe tulyoke tufe ku bantu ba Uganda. Mu ddwaliro yamalayo emyezi esatu naye nga tanafa yatandika okusonda essente ayambe abantu abalina obulwadde buno. Yasiiga nga abantu enjala nga bamuwa pound emu era sente ezo nga aziweereza okuyamba abaana,” Muwanga bwagambye. Ekibiina kino kyatandika n’abaana musanvu. “Bweyafa nengamba nkole ntya, sisobola kusiiga enjala nga bwabadde akola. Naye bwennawulira nti Ssaabasajja Kabaka ayamba abantu abalina sicklecells nasanyuka nnyo. Namanya nti waliwo asobola okunkwatirako,” Muwanga bwagambye. Wetwogerera nga kati ekibiina kirabirira abantu abasukka mu 1000 mu bitundu bye Bamunaanika wamu ne Adjumani mu West Nile. Muwanga asabye abo bonna abasobola okubadduukirira babadduukirire basobole okugenda mu maaso n’okuyamba abantu bano.