Musasi waffe
Olwaleero omwogezi w’ekitongole kya makomera, Frank Biane akakasizza nti ekirwadde mutaseka ekya coronavirus kyamaze dda okugoba mu kitongole kya yogerera.
Bwabadde ayogerako ne Bannamawulire ku ssengejjero ly’amawulire ga gavumenti, Frank Baine ategeezezza nti omusibe omu mu kkomera e Kayiti ekisangibwa mu disitulikiti ye Namutumba mu Busoga yasangibbwamu kolona.
Ono kigambibwa yalina munne e Mayuge eyasangibwamu kolona ekyabaviirako naye okumusaa mu kalantiini.
Wabula bweyakebereddwa kyasangiddwa nti naye ekirwadde kyali kyamuyoola.
Kakati, abasibe abakunukkiriza mu 200 wamu n’abasikirkale 24 ababadde bali mu kkomera lino bonna bateereddwa mu kalantiini nga tewali akkirizibwa kufuluma oba kuyingira.
“Aba minisitule y’ebyobulamu bagenda kujja bakebere abamu ku bantu bazuule oba waliwo abalina kolona oba bonna balamu,” Baine bweyagambye.
N’olwensonag eyo, Baine yategeezezza nti abasibe bonna ababadde mu kkomera ly’e Busesa mu disitulikiti y’e Bugweri bagenda kutwaliba mu makomera amalala ate olwo ddyo ery’e Busesa likole nga kalantiini abasibe abapya bonna gyebatuukira.
Mu mawulire amalala, Baine yategeezezza nti ekkomera ly’e Kitalya eribadde likuumibwamu abasibe bonna abakwatibwa mu Kampala n’emirirwano lijjudde.
Abasibe 3000 abakwatiddwa mu budde bwa kalantiini bebaatwalibbwa mu kkomera e Kitalya.
“Abasibe bonna abapya kati baakutwaliba mu kkomera e Kasangati mu Wakiso oba e Kawuga mu disitulikiti y’e Mukono,” Baine bweyagambye.