Bya Ronald Sserwadda
Kampala
Minisitule y’ebyobulamu etongozza ekifo ewakuumirwa abaana abawere abakazaalibwa okukendeeza ku mujjuzo oguli mu ddwaliro ly’ abakyala e Kawempe.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/08/mula-1024x768.jpg)
“Ekirabo kyokka kyetusobola okuddiza abatukoledde waadi eno kwekukuuma abaana abakazaalibwa nga balamu bulungi nebatafa ate ne ba maama babwe nebafuna ku ssanyu. Okubeebaza olwokuzimba waadi eno tekimala,” Dr. Jane Ruth Aceng bweyategeezezza
Ekifo ekigguddwawo kiri mu ddwaliro lino nga kyakubeeramu abaana 100 ababeera bakazaalibwa, nga bajja kufuna okubudabudibwa n’okujjanjabibwa nga bwebalinda okusiibulwa.
Bwabadde aggulawo edddwaliro lino, Minisita w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng ategeezezza nti newankubadde kawefube yenna bamumalidde ku Covid-19, kikakata ku buli omu okulwanirira obulamu bwa bamaama abazaala nabaana bebazadde.
Waadi eno evvujjiriddwa ensimbi kkampuni y’essimu eya MTN zeyajja mu misinde mubunabyalo egy’omwaka oguwedde ssaako ebitongole ebirala nga Unicef ne UNFPA.
Eddwaliro lino lizaalisa abakyala abali wakati we 80-100 buli lunaku, era nga mu mwezi ogw’omunaana omwaka oguwedde, waliwo ebifaananyi ebyasasaanira omutimbagano nga biraga nga abaana abawere nga bazazikiddwa mu butebe olw’obutaba nakifo kimala webateekebwa.