
Bya Musasi Waffe
Kyotera – Buddu
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naalambula ku bantu be abasangibwa mu Disitulikiti ye Kyotera mu Buddu olwo essanyu neribula okutta abaayo.
Beene.
Abantu mukitundu kino badduse ku mirimu gyabwe nebajja okwelabira ku Mpologoma era bano bategeezezza nti okulabikako kwa Nnyinimu kubawadde essanyu ery’enjawulo.
Kitegeerekese nti Nnyinimu avudde mu Lubiri e Nkoni mu budde naasiima okulambula ku bantu be.