Ekibiina ky’ebyobufuzi ekya Justice Forum [Jeema] kigaanye ba memba baakyo okulekeraawo okujjayo empapula z’okwesimbawo mu kisinde ky’ebyobufuzi ekya People Power.
Bano bagamba nti tekyetaagisa kujjayo mpapula kubanga ekibiina nakyo kiri mukunoonya banaakikwatira bendera mu kulonda okujja.
Muhammad Kateregga ssaabawandiisi w’ekibiina, yategeezezza nti balina enkolagana ne People Power ey’okukolera awamu n’olwekyo nga tekyetaagisa kujjayo mpapula.
Ono yategeezezza nti tebamanyi butya aba People Power, ekisinde ekikulemberwa omubaka w’e Kyaddondo ey’obuvanjuba Robert Kyagulanyi, bwebagenda okubalonda.
“Twagamba dda nti tukkiririza mu People Power, n’olweykyo tewali bwetaavu bwa kufuna mpapula za People Power. Ebibiina birina enteekateeka yaabyo okufuna abanaabikwatira bendera,” Abdulnoor Kyammundu, omwogezi wa Jeema bweyategeezezza bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Mmengo.
Omwogezi wa People Power, Joel Ssenyonyi yategeezezza sabbiiti ewedde nti baafunye abantu 6000 abaagala okwesimbawo ku bifo eby’enjawulo mu ggwanga lyonna ku bifo eby’enjawulo mu kalulu akajja.
URN