Bya Shafic Miiro
Nsangi – Busiro
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abantu okutwala obulamu bwabwe nga ensonga enkulu bwebaba baagala okulaakulana beegobeko obwavu.
Obubaka buno Katikkiro abutisse Minisita w’Amawulire n’Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke, bw’abadde amukiikiridde okuggulawo eddwaliro li Muteesa II Health Center e Nsangi ku Lwokusatu.
Owek. Mayiga ategeezeza nti amalwaliro g’Obwakabaka gagenda kutuusa obujjanjabi obw’omutindo ate nga busoboka mu bisale eri buli muntu nga Nnyinimu bwe yasiima kikolebwe.
Yeebazizza bannamukago bonna abakolaganye n’Obwakabaka mu kutuukiriza omulimu guno amakula.
Ku lulwe, Oweek. Kazibwe agamba nti mu mbalirira y’Obwakabaka 2024/2025, Ebyobulamu y’emu ku nnyingo ezaasoosowazibwa era anokoddeyo enteekateeka ng’okutegeka ensiisira z’ebyobulamu, okuzimba amalwaliro, okunnyikiza kaweefube ow’okuyamba ku balina obulwadde bw’emitwe eyatongozebwa Nnaabagereka, emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka, eddwaaliro eritambula n’ebirala bingi.
Ono agamba nti bino byonna bigendererwamu okunyweza Ebyobulamu Kabaka byataddemu ddala amaanyi mu myaka 31 ng’atudde ku Nnamulondo.
Owek. Kazibwe ategezezza nti waliwo enteekateeka nnyingi ez’enjawulo mu kujjukira emyaka 31 egya Kabaka Mutebi II ku Nnamulondo okulaba nga gijjukirwa mu kitiibwa era okuggulawo amalwaliro g’Obwakabaka y’emu ku nteekateeka ezo.
Wano waasinzidde okwebaza abantu ba Kabaka bonna olw’okuwagira enteekateeka ey’okuzimba Amalwaliro
ly’Obwakabaka lino era abakubirizza okufaayo ennyo ku byobulamu nga bafuna yinsuwa z’obulamu, okwekebeza, okwejjanjibisa, okubeera abayonjo, okukola dduyiro n’ebirala nga bino kijja kuyamba okutumbula Ebyobulamu mu Buganda ne Uganda yonna.
Yeebazizza nnyo abukulembeze naddala ba Minisita abaamulembera mu Minisitule y’Ebyobulamu, olwa byonna bye baakola okugatta omuwendo ku mulimu gw’okuzimba amalwaliro g’Obwakabaka era ne bannamukago abatambudde wamu n’Obwakabaka okuggusa omulimu guno.
Ye Omumyuka Asooka owa Ssebwana Oweek. Sseruyange Grace yeebazizza Kabaka olw’okubeera omusaale mu kutmbula ebyobulamu ate n’olwokuwa Busiro ekirabo eky’eddwaaliro,.
Omwami ow’Eggombolola Ssaabaddu Nsangi,Wasswa Mathias naye yeebazizza nnyo Kabaka olw’okusiima okuzimba eddwaaliro mu Ggombolola eno, agamba nti newankubadde wabaddewo okusoomozebwa naddala mu okuggyawo ab’ebyokwerinda abali mu kifo kino naye oluvannyuma bakkiriza enkulaakulana Nnyinimu gye yasiima eteekebwe mu kitundu kino okugenda mu maaso.
Yeebazizza Gavumenti ya Kabaka ewagidde ennyo omulimu guno okulaba nga gugguka wamu n’abakulembeze mu Gavumenti eyawakati abayambye nnyo naddala ku by’okwerinda by’ekitundu kino.
Kinajjukirwa nti enteekateeka eno yeekulembeddemu okujjukira Amatikkira ga Kabaka Mutebi II ag’omulundi ogwa 31 nga Nnyinimu ali ku Nnamulondo alamula.