Bya Ssemakula John
Masaka
Bannakibiina kya National Unity Platform (NUP) okuli; Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe ne Nubian Li, akalulu ka 2021 bagenda kawulira buwulizi.
Bano n’abalala wadde kkooti e Masaka yasoose kubayimbula ku kakalu kaayo ka mitwalo 20 buli omu oluvannyuma lw’okukwatibwa e Kalangala ne basomebwa emisango gy’okukuma omuliro mu bantu n’okwetaba mu bikolwa ebisaasaanya Ssennyiga Corona.
Bwe babadde mu maaso g’Omulamuzi Charles Yeteise, oludda oluwawaabirwa nga lukulembeddwa Fred Musisi lw’ategeezezza nti omusango gwa bano gwabadde gusobola okweyimirirwa ate ng’abasinga babadde mu mbeera mbi nga kigambibwa nti baatulugunyiziddwa nga bali mu kkomera.
Era bano omulamuzi yabayimbudde wabula abana ku bano 123 okuli; Eddie Mutwe, Kafuko Stanely ne Kampala Lookman bazzeemu okukwatibwa era ne bazzibwa ku alimanda okutuusa nga January 19 2021.
Mutwe ne banne bavunaaniddwa emisango okuli ogw’okwonoona ebintu bya poliisi, okubakuba wamu n’emisango emirala.
Wadde nga bannamateeka ba NUP baagezezzaako okubasabira okweyimirirwa wabula tekwasobose.
Eggulo we bwazibidde nga NUP yaakasasulako ssente z’abasibe 50 bokka wamu nga kisuubira nti leero ku Lwokubiri n’abalala bajja kuyimbulwa oluvannyuma lw’okutuukiriza obukwakkulizo obwateereddwawo kkooti.