Bya Huzair Jjuuko Wasajja ne Arthur Kalumba
Mmengo – Kyaddondo
Emisinde gy’okutaasa ebinyonyi gisembedde, gya Sande eno nga 18 Mukulukusabitungotungo.

Ekitongole ekirwanirira eddembe ly’e binyonyi okusingira ddala Ngaali, ki Avian Conservation Uganda kitegese emisinde egy’okuddukira ku mulamwa gw’okukuuma n’okutaasa ebinyonyi nga akamu ku kabonero k’okuzibula abantu amaaso omugaso gw’ebinyonyi n’ebifo mwe biwangaalira.
Abakulira ekitongole kino banjulidde Minisita w’obuwangwa ennono n’obulambuzi, Oweek Dr. Anthony Wamala, omujoozi gwebanaddukiramu emisinde gino era n’agutongoza. Oweek.

Anthony Wamala, alaze obukulu bw’okukuuma ebinyonyi kubanga bimu ku Bika by’Abaganda, era okukuuma obutondebwensi tuba tunywerezaamu obukulu bw’Ebika, bw’atyo akoowodde abantu ba Uganda okujja mu bungi okwetaba mu misinde gino era ensimbi zebanaawaayo nga bagula emijoozi za kuyambako okukuuma ebinyonyi n’ebifo mwe bibeera omuli entobazi, emiti, n’ensiko.
Nakalule Catherine, omu ku bakiikiridde Avian Conservation Uganda, annyonnyodde nti baavaayo n’enteekateeka eno oluvannyuma lw’okulaba nga ebinyonyi tebifiiriddwako kimala nga n’omuwendo gw’abyo gugenze gukendeera olw’okuyigganyizibwa entakera.

Ono akunze abantu babeeyungeko mu misinde gye bategese bawagire kaweefube w’okutaasa ebinyonyi.Buli mujoozi gwa mitwalo esatu n’ekitundu (35000) eri oyo aneetaba mu misinde gino eginaasimbula ku Sheraton Hotel mu Kampala.










