Bya Noah Kintu
Abatuuze e Ssembabule bafunye ku ssanyu olw’ekitundu kyabwe okubeera ekimu ku bisoose okutuukamu eddagala erigema ekirwadde kya Ssennyiga Corona, wakati g’eggwanga liri mukugema abantu abenjawulo.
Amyuka akulira ebyobulamu mu disitulikiti, Nannyunja Justine agambye nti, “Tugenda kusookera ku basawo kugema era anaafuna obuzibu ne tutegeererawo mangu, ajja kuyambibwa bunnambiro nga tetunnatandika kugema bantu baabulijjo kuba abantu bangi bagamba nti be bagema bafa, ensonga eno si ntuufu wabula eba nteekateeka ya Katonda omuntu okufa.”
Nannyunja ategeezezza nti singa omuntu anaagemebwa n’afuna obuzibu, ajja kuyambibwa era baakugemera mu bifo eby’enjawulo bitaano okuli; Lwemiyaga, Ntuusi, Ssembabule, Mateete, Lwebitakuli n’awalala.
Mu nteekateeka eno omuntu agenda kuweebwa ddoozi ya mirundi ebiri nga eyookubiri ajja kugifuna oluvannyuma lw’emyezi 8.
Okusinziira ku Nannyunja, abantu abaakakasiddwa nti balina ekirwadde kya Ssennyiga Corona tebagenda kugemebwa wabula bajja kulinda bagemebwe oluvannyuma lw’emyezi era ng’okugemebwa kwa kyeyagalire.
“Omuntu okumugema alina kusooka kukkiriza, kuba okugema si kwa buwaze era tufunye ddoozi 3,520 wabula abantu abaakeewandiisa okusookerwako okufuna ddoozi eno, naakafunako 200 nga be basawo bokka.” Nannyunja bw’agasseeko.
Omubaka wa gavumenti mu disitulikiti eno, Walugembe Ramathan, akakasizza ng’eddagala lino bwe lituuse mu kitundu kye, n’agamba nti bamaze okulikwasibwa ne yeebaza gavumenti olw’okufaayo ku bantu be.