• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'Obulamu

Eddagala erigema COVID-19 lituuse e Ssembabule

Gambuuze by Gambuuze
March 11, 2021
in Eby'Obulamu
0 0
0
Eddagala erigema COVID-19 lituuse e Ssembabule
0
SHARES
57
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Noah Kintu

Abatuuze e Ssembabule bafunye ku ssanyu olw’ekitundu kyabwe okubeera ekimu ku bisoose okutuukamu eddagala erigema ekirwadde kya Ssennyiga Corona, wakati g’eggwanga liri mukugema abantu abenjawulo.

Abamu ku batwala eby’obulamu nga bakwasibwa eddagala lino

Amyuka akulira ebyobulamu mu disitulikiti, Nannyunja Justine agambye nti, “Tugenda kusookera ku basawo kugema era anaafuna obuzibu ne tutegeererawo mangu, ajja kuyambibwa bunnambiro nga tetunnatandika kugema bantu baabulijjo kuba abantu bangi bagamba nti be bagema bafa, ensonga eno si ntuufu wabula eba nteekateeka ya Katonda omuntu okufa.”

Nannyunja ategeezezza  nti singa omuntu anaagemebwa n’afuna obuzibu, ajja kuyambibwa era baakugemera mu bifo eby’enjawulo bitaano okuli; Lwemiyaga, Ntuusi, Ssembabule, Mateete, Lwebitakuli n’awalala.

Mu nteekateeka eno omuntu agenda kuweebwa ddoozi ya mirundi ebiri nga eyookubiri ajja kugifuna oluvannyuma lw’emyezi 8.

Okusinziira ku Nannyunja, abantu abaakakasiddwa nti balina ekirwadde kya Ssennyiga Corona tebagenda kugemebwa wabula bajja kulinda bagemebwe oluvannyuma lw’emyezi  era ng’okugemebwa kwa kyeyagalire.

“Omuntu okumugema alina kusooka kukkiriza, kuba okugema si kwa buwaze era tufunye ddoozi 3,520 wabula abantu abaakeewandiisa okusookerwako okufuna ddoozi eno, naakafunako  200 nga be basawo bokka.” Nannyunja bw’agasseeko.

Omubaka wa gavumenti mu disitulikiti  eno, Walugembe Ramathan, akakasizza ng’eddagala lino bwe lituuse mu kitundu kye, n’agamba nti  bamaze okulikwasibwa ne yeebaza gavumenti olw’okufaayo ku bantu be.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist