Bya Ssemakula John
Kampala
Abantu abawerako baddusiddwa mu ddwaliro nga bali mu mbeera mbi oluvannyuma lw’eddaali ly’ekizimbe ewali Fido dido ku Kampala Road, okuggwamu wakati nga bali mu kusaba.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/03/Abasawo.png)
Bano abaddusiddwa mu ddwaliro bagoberezi ba House of Rest era baabadde bakung’aanye ku kimu ku bisenge by’ekizimbe kino nga bali mu kusaba okumanyiddwa nga ‘Lunch Hour.’
Omu ku bakolera mu kizimbe kino Kato Ibra yategeezezza nti ekizibu kyavudde ku muntu eyabadde alinnye waggulu mu ddaali (Ceiling) okulaba ekyaggyeeko amasannyalaze wabula ono teyabandaddeyo n’aggwa n’eddaali lino.
“Ceiling ebadde nkadde nnyo. Abantu abawera bataano bafiiriddewo. Nze nkozesezza emmotoka yange okutwala abamu ku bantu mu ddwaliro.” Omulala ku baabaddewo Nkumbi Kenneth bwe yategeezezza.
Omu ku baasimattuse, Ibrahim Ssegandi yategeezezza nti abantu abasoba mu 30 be baafunye ebisago naye ku bano 13 baabadde mu mbeera mbi. We twakoledde eggulire lino nga poliisi ekyagenda mu maaso n’okusikayo abantu mu kisenge ekyaguddemu era 15 ku bano baabadde bamaze okusikibwayo.
Eby’okwerinda byanywezeddwa okuliraana ekitundu kino era poliisi obwedda tekkiriza bantu kuyingira munda mu kizimbe kino awaagudde ekizibu.