Bya Francis Ndugwa
Kasubi
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, ategeezezza nti omulimu gwa gw’okuzzaawo Amasiro g’e Kasubi tegumala gakolebwa kusanyusa bayise. Wabula bafuba okulaba nga buli kimu kikolebwa mu nnono n’omutindo wakati mu kugoberera ennono n’asaba abantu obutabeera nakutya ku nsonga eno.
Bino Owek. Mayiga abyogeredde Kasubi ng’alambula omulimu gw’okuzzaawo Amasiro we gutuuse leero ku Lwokusatu.
“Ebya Muzibwazaalampanga si byakusanyusa bayise, byakulondoola mulimu nga bwe gulina okuba mu nnono n’omutindo gw’ebyo ebikolebwa era kye tufubyeko.” Owek. Mayiga bw’agambye.
Ono agumizza Abaganda obutafa ku bantu bye boogera naye amaaso bagateeke ku ebyo ebikolebwa kubanga emirundi egisinga, ennyumba ezimbibwa ku bugenyi.
Mukuumaddamula asiimye Katikkiro w’Amasiro, Nkalubo, olw’okuteekawo empuliziganya ennungi, ekiyambye okukuuma ekifo kino wamu n’okunyweza ennono yaakyo.
Katikkiro Mayiga ategeezezza nti kibadde kimukakatako okulambula n’okulondoola okulaba omulimu gwa Muzibwazaalampanga we gutuuse nga omwaka guno ogwa 2020 tegunnaggwaako.
Kamalabyonna Mayiga era asiimye Abazaana n’Abasiige abakuuma ekibuga kino era abayambye okunyweza ennono ya Buganda eno, era n’asuubizza okukola ku mirimu emirala omuli okuddaabiriza ennyumba eziri mu Amasiro gano nga gawedde.
Owek. Mayiga yeebazizza Wabulaakayole n’abantu be olw’okumalirira okumaaliriza omulimu guno, wamu ne Owek. Kaddu Kiberu ssaako n’olukiiko lwe, olw’okutambuza obulungi omulimu guno.
Ono era asiimye omuwanika wa Buganda, Owek. Waggwa Nsibirwa wamu ne Minisita avunaanyizibwa ku Masiro, Owek. Kyewalabye Male, olw’omulimu amakula gwe bakoze.
Akulira akakiiko akazimba Amasiro gano, Owek. Kaddu Kiberu, ategeezezza nti omulimu bagukutte kannabwala ng’essaawa yonna guggyibwako engalo.
Owek. Waggwa Nsibirwa omuwanika ku lukiiko eyakulembeddemu enteekateeka eno, yeebazizza Abazaana n’Abasiige olwomwoyo gwa Buganda gwe balina ogutafa, abafuddeyo okulaba ng’ekifo kino kisigaza ekitiibwa kyakyo.
Mu kulambula kuno, Katikkiro awerekeddwako; omumyuka asooka owa Katikkiro, Owek. Hajji Prof. Twaha Kawaase Kigongo, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, Minisita w’amawulire, Owek. Noah Kiyimba, Minisita w’ettaka, obulimi n’obwegassi Owek. Mariama Mayanja Nkalubo.