• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Eby’okuwamba abantu n’okubatulugunya tusaba bikome – Katikkiro Mayiga

Gambuuze by Gambuuze
February 12, 2021
in Agafa e Mengo
0 0
0
Eby’okuwamba abantu n’okubatulugunya tusaba bikome – Katikkiro Mayiga
0
SHARES
27
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Katikkiro  wa Buganda, Charles Peter Mayiga, ategeezezza nti Obwakabaka bwa Buganda baagala ebikolwa eby’okuwamba abantu n’okubatulugunya bikomezebwa  mu bwangu kuba bino bigikyayisa era nga bisobola bulungi okugisuula.

Katikkiro Mayiga n’abamu ku bakulembeze ba BYC abayiseemu

“Obwakabaka bwa Buganda busaba abakulu mu gavumenti okumalawo obunkenke, tubasaba okuwamba abantu, okubakuumira mu bifo ebitamanyiddwa n’okubatulugunya bikomezebwe.” Owek. Mayiga bw’agambye.

Katikkiro Mayiga okulaga obwennyamivu abadde asisinkanye abavubuka ba Buganda Youth Council abaawangula ebifo eby’enjawulo mu nsisinkano ebadde mu bimuli bya Bulange e Mmengo. Owek. Mayiga awanjagidde abakulu okumanya nti abalabe baayo si bantu bagivuganya ng’abasiika Capati naye abo abagikyayisa abantu.

“Omuntu ayagala okusuula gavumenti y’oyo akola ebikolwa ebikyayisa gavumenti. Okuwamba abantu ne baggalirwa mu bifo ebitamanyiddwa, okubonyaabonya abakwatiddwa ne batuuka n’okubatta, omwana Ssegawa bamuggyeemu enjala oba okubookya ppaasi, ebikolwa eby’engeri eyo bikyayisa gavumenti. Katikkiro Mayiga bw’agambye. Ono alaze eby’okulabirako ku basajja ba Idi Amin ne Obote abawambanga abantu wabula kino kyanafuya gavumenti zino era ne zigwa.

Kamalabyonna agamba nti abatambulira mu mmotoka z’ekika kya ‘Drone’ balabe ba gavumenti era baagala eveeko.

“Si buli lw’ovuganya gavumenti nti ogiggyako naye buli lw’ogikyayisa oba ogireetera okugwa.” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde. Owek. Mayiga asabye abalowoozebwa okubeera n’emisango basooke kunoonyezebwako era bakwatibwe mu ngeri eteeka ekitiibwa mu  ddembe lyabwe. Bano Katikkiro Mayiga abasibidde entanda bulijjo obutatiirira Ssaabasajja Kabaka era bwe wabaawo ensonga yonna badde embuga basobole okulambikibwa.

Ate ye Minisita w’obuwangwa n’ennono, David Kyewalabye Male, agambye nti  ye ne Minisita Ssekabembe beetikka omulimu okukulembera abavubuka bano n’okubalaga ekkubo.  Ono asiimye abavubuka olw’okubeera abamalirivu ne bavaayo okukiikirira abantu baabwe.

“Bano basobodde okulaga eggwanga nti abantu ba Buganda basobola okubeesiga ne babateeka mu by’obukulembeze nga tewali kye babawadde.” Owek. Kyewalabye bw’agambye.

Ye omubaka omulonde owa Nakaseke Central era y’abadde omukubiriza w’olukiiko lw’abavubuka Ttabamiruka, Allan Mayanja Ssebunnya, agambye nti olutabaalo terubadde lwange naye olw’amaanyi g’abantu basobodde okuwangula. “Tuwera  mu maaso go, okulwanirira ekyo abantu kye batulabyemu okukituukiriza naye nga mu byonna z’ensonga za Buganda Ssemasonga ettaano era ensonga enkulu mu zino y’ensonga ya Federo.” Omubaka Ssebunnya bw’asuubizza.

Abalala abakomyewo okuwoza olutabaalo kuliko; Bukenya Farok Sansabula,  Ssemanda Mathias, Solome Nangooba, Mwagalanyi Ali mudde, Ssemindi Salim, Kibira Aloysious, Kamuli Joseph,  Namboowa Rashida awamu n’abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.