Bya Ssemakula
Bulemeezi
Omwami wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza Bulemeezi, Kkangaawo Ronald Mulondo, asabye gavumenti okuggya eby’obufuzi mu nsonga z’abantu abawambibwa wasobole okubaawo obwenkanya eri abantu bano.
Kkangaawo Mulondo ayagala abakwate basimbibwe mu kkooti eziragirwa mu mateeka mu kifo ky’okubakuumira mu bifo ebitamanyiddwa ekirinnyirira eddembe lyabwe.
“Tetuwakanya muntu mumenyi w’amateeka kukwatibwa naye tugamba nti omuntu bwakwatibwa ng’alina etteeka ly’amenya, atwalibwe avunaanibwe mu kifo ekimanyiddwa obulungi era aweebwe ekibonerezo ng’amateeka bwegalagira.” Kkangaawo Mulondo bwe yasabye.
Kkangaawo yagasseeko nti akadde katuuse bakolere wamu nga bannabulemeezi era babeeko ekintu eky’enkizo kye bamanyibwako, okusobola okutwala essaza lino mu maaso.
Okusinziira ku Kkangaawo Mulondo, mu nsisinkano eno bakubaganyizza ebirowoozo ku by’obulamu, ebyenjigiriza n’ensonga endala zonna n’ekigendererwa ky’okukyusa embeera z’abantu ba Kabaka mu kitundu kino.
Ono yabasabye okwegattira awamu awatali kusososola mu nzikiriza za byabufuzi, basobole okukyusa ekitundu kyabwe era bakkaatirize eddoboozi eryawamu. Bo abeetabye mu nsisinkano eno okuli; Omubaka Ssekabira Dennis owa Katikamu North n’owa Katikamu South Hassan Kirumira, bagambye nti ebikolobero bingi ebigenda maaso mu ggwanga nga byonna byetaaga okulwanyisibwa awatali kubiyingizaamu byabufuzi.
Ate ye omubaka omulonde owa Nakaseke Central, Allan Mayanja Ssebunnya, yategeezezza nti ekiseera kino kyakusitula abantu b’e Bulemeezi abasembayo wansi awatali kusosola.
Abakulembeze bano era baasiimye Kkangaawo olw’ensisinkano eno bwebatyo ne beeyama okutwala Bulemeezi ku ntikko.