Bya Ssemakula John
Kampala
Omuntu omulala agambibwa okwenyigira mu bulumbaganyi obwakolebwa ku Gen. Katumba Wamala avunaaniddwa.
Huzaifa Wampa, aka Kanaabe ,34 , omuvuzi wa boodabooda yasimbiddwa mu kkooti esookerwako e Nakawa n’avunaanibwa emisango okuli; ogw’obutemu, obutujju wamu n’okugezaako okutta omuntu.
“Huzaifa Wampa, n’abalala 7 awamu n’abakyanoonyezebwa wakati wa March 2015 ne June 2021 mwakola obulumbaganyi obwenjawulo era mu bifo ebyenjawulo n’ekigendererwa ky’okutiisatiisa abantu olw’ensonga z’eddiini n’ebyobufuzi, mu bulumbaganyi buno mwattiramu abapoliisi, abamagye awamu n’abantu ba bulijjo era ne mulumba ne poliisi ez’enjawulo.” bw’atyo omuwaabi wa gavumenti bw’abategeezezza.
Omulamuzi omukulu owa kkooti eno, Dr. Douglas Ssingiza, ono tamukkiriza kubaako ky’ayogera olw’okuba omusango gwe yazza gwa Nnaggomola oguwulirwa kkooti enkulu.
Wampa asindikiddwa ku alimanda okutuuka August 3, 2021. Ono afuuse omuntu owoomunaana asimbiddwa mu kkooti olw’okugezaako okutemula Gen. Katumba Wamala gye byaggweera nga muwala we ne ddereeva we battiddwa.
Abalala kuliko; Sserubula Hussein Ismael, Nyanzi Yusuf Siraje, Muhammad Kagugube aka Bafumoya, Kamada Walusimbi, amanyiddwa nga Mudinka, Sirimani Kisambira Ayub, Abdulaziz Ramathan Ddungu ne Habid Ramathan Marjan.