Bya Ssemakula John
Kampala
Abantu 7 abaakwatibwa ku by’okulumba Gen. Katumba Wamala ne bakuba emmotoka ye amasasi agatta muwala we ne ddereeva we, basimbiddwa ku kkooti esookerwako e Nakawa ne bavunaanibwa emisango okuli; obutemu, okugezaako okutemula Gen. Katumba Wamala wamu n’obutujju.
Bano kuliko; Sserubula Hussein Ismael, Nyanzi Yusuuf Siraje, Muhammad Kagugube amanyiddwa nga Bafumoya, Kamada Walusimbi eyeeyita Mudinka, Sirimani Kisambira Ayub, Abdulaziz Ramathan Dungu ne Habid Ramathan Marjan.
Abasajja bano basimbiddwa mu maaso g’Omulamuzi Dr. Douglas Singiza era ne bavunaanibwa okutta Brendah Nantongo ne Sgt Haruna Kayondo e Kisota Road mu Kisaasi.
Oludda oluwaabi lulumiriza nti nga June 1, 2021, bano wamu n’abalala abakyalira ku nsiko batemula abantu bano babiri ekikontana n’akawaayiro nnamba 188 ne 189 aka ‘Penal Code Act’.
Bano babalumirizza okugezaako okutta Gen. Katumba Wamala n’omukuumi we Sgt Khalid Koboyoit, ekintu nakyo ekimenya amateeka.
Era gavumenti ebataddeko emisango gy’obutujju bwe baakola wakati wa 2015 ne 2021 mu bitundu bya Uganda ebyenjawulo era nga beenyigira mu kutiisatiisa awamu n’okutemula abantu okwali ne bannamagye.
Abasajja bano tebakkiriziddwa kubaako kye boogera kubanga emisango gye bazza gya Nnaggomola egiwulirwa kkooti enkulu.
Omulamuzi abasindise mu kkomera e Kitalya okutuusa nga August 3, 2021, Oluvannyuma lw’omuwaabi wa gavumenti okutegeeza nti okunoonyereza mu musango guno kukyagenda mu maaso.
Bano mu kkooti bazze baliko ebisago ebyamaanyi bye bagamba nti byava ku kutulugunyizibwaa era nga bayita mu munnamateeka waabwe, Geoffrey Turyamusiima okuva mu Wameli and Co Advocates, basabye kkooti bayimbulwe basobole okugenda okujjanjabibwa.
Mu kwanukula omulamuzi ategeezezza nga bw’atayina buyinza kubayimbula wabula n’alagira batwalibwe e Kitalya era beekebejjebwa abakulu mu kkomera eryo ku bigambibwa nti batulugunyizibwa era bakola alipoota gye bajja okuleeta mu kkooti nga babakomyawo.