Bya Ssemujju John
Kyaddondo
Owek. Choltilda Nakate Kikomeko yeetabye ku bijaguzo eby’emyaka 10 egy’essomero Smiling Star Junior School – Buloba nga lino lye ly’Omuziira mu Bazira owa 2005 Omw. Kaye John Ddamba.

Owek. Nakate, nga ye Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda, yebazizza omutandisi w’essomero olw’ekulaakulana y’essomero n’ategeeza nti ebyenjigiriza kya kulwanyisa ekiyamba okuzimba obumalirivu mu baana abayimiriddeko Eggwanga ery’enkya, era oyo abiteekako ettofaali abeera azimba ggwanga.
Mu ngeri y’emu asanyukidde enkola y’okuzimba ebitone mu baana ng’agamba nti omulimu gw’essomero ssi kusomesa bya mu kibiina kyokka, wabula okuzuula obusobozi bw’omuyizi mu bintu eby’enjawul.
Minisita Nakate asabye omutandisi w’essomero lino okussa essira ku lulimi oluganda nga naye bwe yalufunamu, n’abantu abalala basobole okulufunamu ate n’okutegeera obukulu bwalwo.
Ye Omuk. Kaye John yeyanzizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okubawa entandikwa nga ayitira mu laadiyo CBS mu pulogulaamu Entanda. Ono agamba nti essomero lyatandika mu 2015 n’abaana 30 nga Kati liwezezza abaana 1046, essomero lyatandika ne yiika 2 nga kati ziri yiika 4.
Ategeezezza nti mu buweereza bwabwe eri Eggwanga bateeka essira ku kuzimba omwana ajjudde era akola ebintu eby’enjawulo nga bayimbiddwako bannamikago. Omukolo gw’etabiddwako Abazira ab’enjawulo wamu ne ba Ssenkulu b’amassomero g’Obwakabaka ab’enjawulo n’abantu abalala.
Ku mukolo guno abayizi boolesezza ebitone eby’enjawulo omuli okuyimba, okuzina, okutontoma, okuzannya emizannyo n’ebirala.









