Musasi waffe
Olwaleero ekitongole ekikola ku byebigezo kifulumizza ebyava mu bigezo bya bayizi b’ekibiina eky’omusanvu abaatuula omwaka oguwedde. Nga afulumya ebyava mu bigezo. Dan Odongo akulira ekitongole kino, agambye abayizi basinze kuyita ssomo lya SST n’oluzungu ngate okubala ne sayansi bidiridde. Abayizi 683, 302 bebaakola ebigezo omwaka oguwedde ate nga abalala 12,502, beewandiise wabula nga tebaalabikako. Abayizi 617,150 bebayise ebigezo bino ngate abayizi 66,152 bagudde.