Bya Musasi waffe
Minisita avunanyizibwa ku by’enjigiriza n’emizannyo era mukyala w’omukulembeze w’eggwanga Janet Museveni olwaleero efulumizza ebyava mu bigezo bya bayizi abaatuula siniya ey’okuna omwaka guwedde.
Okusinziira ku byafulumizibbwa, abayizi 337720 beebaatuula ebigezo nga kubbo abayizi169258 baali bawala ng’ate abayizi 168462 baali balenzi.
Okusinziira ku Mukyala Museveni, kino kiraga nti enteekateeka ya gavumenti ya NRM ey’okutandika okusoma okw’obwerere mu pulayimale ne sekendule kwekuleese abaana abawala okweyongera.
Guno gwe mulundi ogusookedde ddala mu byafaayo bya Uneb, ekitongole ekikola ku bigezo mu ggwanga okuba n’abayizi abawala okusinga abalenzi.
Mukayala Museveni yagambye nti abaana abawala bwebasoma kigasa nnyo eggwanga kubanga bebannakazadde b’eggwanga n’olwekyo bwebaba n’obulamu obulungi n’eggwanga liba n’obulamu obulungi.
“Tulina okufuba okulaba nti abaana abawala tebabeera mussomero kyokka wabula nti era bamaliriza buli mutendera gwebagenzeeko,” Mukyala museveni bweyagambye.
Naye newankubadde nga abawala baasinze abalenzi obungi, ebyavudde mu bigezo byalaze nti abalenzi bakyaleebya abawala mu kukola obulungi.
Okugeza abalenzi16,513 bebaayitidde muddala erisooka ng’ate abawala baabadde 11329.
Okuleka disitulikit mukaaga ezisigadde abalenzi era baaleebezza abawala mu kukola obulungi.
Abalenzi era baasinze abawala okukola obulungi mumasomo ga sayansi nga Chemistry, Biology, Physics n’okubala.
Abawala bbo baaleebezza abalenzi mu lungereza.